< Abaruumi 9 >

1 Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu,
I say the truth in Christ, I lie not, my conscience also bearing me witness in the Holy Ghost,
2 nga ndimunakuwavu nnyo era nga nnumwa mu mutima.
That I have great heaviness and continual sorrow in my heart.
3 Nnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab’omu mubiri,
For I could wish that myself were accursed from Christ for my brethren, my kinsmen according to the flesh:
4 be Bayisirayiri, abantu ba Katonda abalonde. Katonda yabalaga ekitiibwa kye, n’akola nabo endagaano, n’abawa n’amateeka ge. Yeekaalu yagibawa, n’abawa n’ebyasuubizibwa.
Who are Israelites; to whom [pertaineth] the adoption, and the glory, and the covenants, and the giving of the law, and the service [of God], and the promises;
5 Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina. (aiōn g165)
Whose [are] the fathers, and of whom as concerning the flesh Christ [came], who is over all, God blessed for ever. Amen. (aiōn g165)
6 Naye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna ab’omu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala.
Not as though the word of God hath taken none effect. For they [are] not all Israel, which are of Israel:
7 Ate so si nti ly’ezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.”
Neither, because they are the seed of Abraham, [are they] all children: but, In Isaac shall thy seed be called.
8 Kino kitegeeza nti abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda, wabula abo ab’okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu.
That is, They which are the children of the flesh, these [are] not the children of God: but the children of the promise are counted for the seed.
9 Kubanga ekigambo ky’okusuubiza kye kino nti, “Mu kiseera nga kino Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
For this [is] the word of promise, At this time will I come, and Sara shall have a son.
10 Ate si ekyo kyokka, naye ne Isaaka jjajjaffe yalina Lebbeeka eyali olubuto.
And not only [this]; but when Rebecca also had conceived by one, [even] by our father Isaac;
11 Naye ng’abalongo tebannazaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola kyonna ekirungi oba ekibi, okusiima kwa Katonda nga bwe kuli,
(For [the children] being not yet born, neither having done any good or evil, that the purpose of God according to election might stand, not of works, but of him that calleth; )
12 si lwa bikolwa wabula ku bw’oyo eyabayita, kyategeezebwa Lebbeeka nti, “Omukulu y’aliba omuweereza w’omuto.”
It was said unto her, The elder shall serve the younger.
13 Era nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo namwagala, naye Esawu namukyawa.”
As it is written, Jacob have I loved, but Esau have I hated.
14 Kale tunaagamba ki? Ddala ddala Katonda talina bwenkanya? Kikafuuwe.
What shall we say then? [Is there] unrighteousness with God? God forbid.
15 Agamba Musa nti, “Ndisaasira oyo gwe ndisaasira, era ndikwatirwa ekisa oyo gwe ndikwatirwa ekisa.”
For he saith to Moses, I will have mercy on whom I will have mercy, and I will have compassion on whom I will have compassion.
16 Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda.
So then [it is] not of him that willeth, nor of him that runneth, but of God that sheweth mercy.
17 Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.”
For the scripture saith unto Pharaoh, Even for this same purpose have I raised thee up, that I might shew my power in thee, and that my name might be declared throughout all the earth.
18 Noolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza.
Therefore hath he mercy on whom he will [have mercy], and whom he will he hardeneth.
19 Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima?
Thou wilt say then unto me, Why doth he yet find fault? For who hath resisted his will?
20 Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?”
Nay but, O man, who art thou that repliest against God? Shall the thing formed say to him that formed [it], Why hast thou made me thus?
21 Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?
Hath not the potter power over the clay, of the same lump to make one vessel unto honour, and another unto dishonour?
22 Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza.
[What] if God, willing to shew [his] wrath, and to make his power known, endured with much longsuffering the vessels of wrath fitted to destruction:
23 Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye.
And that he might make known the riches of his glory on the vessels of mercy, which he had afore prepared unto glory,
24 Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga.
Even us, whom he hath called, not of the Jews only, but also of the Gentiles?
25 Ne mu Koseya agamba nti, “Abataali bantu bange ndibayita abantu bange, Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”
As he saith also in Osee, I will call them my people, which were not my people; and her beloved, which was not beloved.
26 Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti, “Temuli bantu bange, mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”
And it shall come to pass, [that] in the place where it was said unto them, Ye [are] not my people; there shall they be called the children of the living God.
27 Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
Esaias also crieth concerning Israel, Though the number of the children of Israel be as the sand of the sea, a remnant shall be saved:
28 Kubanga Mukama alisalawo era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”
For he will finish the work, and cut [it] short in righteousness: because a short work will the Lord make upon the earth.
29 Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti, “Singa Mukama ow’Eggye teyatulekerawo zzadde, twandifuuse nga Sodomu, era twandifaananye nga Ggomola.”
And as Esaias said before, Except the Lord of Sabaoth had left us a seed, we had been as Sodoma, and been made like unto Gomorrha.
30 Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza,
What shall we say then? That the Gentiles, which followed not after righteousness, have attained to righteousness, even the righteousness which is of faith.
31 naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo?
But Israel, which followed after the law of righteousness, hath not attained to the law of righteousness.
32 Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako,
Wherefore? Because [they sought it] not by faith, but as it were by the works of the law. For they stumbled at that stumblingstone;
33 nga bwe kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n’olwazi olulibasuula. Oyo amukkiriza taliswazibwa.”
As it is written, Behold, I lay in Sion a stumblingstone and rock of offence: and whosoever believeth on him shall not be ashamed.

< Abaruumi 9 >