< Abaruumi 11 >
1 Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, ow’omu kika kya Benyamini.
2 Katonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri?
3 Yagamba nti, “Mukama, basse bannabbi bo ne bamenyaamenya n’ebyoto byo. Nze nzekka nze nsigaddewo, ate bannoonya okunzita.”
4 Naye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.”
5 Era bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olw’ekisa.
6 Naye obanga lwa kisa, si lwa bikolwa nate, kubanga ekisa kyandibadde tekikyali kisa.
7 Kale tugambe ki? Abayisirayiri baalemwa okufuna kye baali banoonya, wabula be yalondamu be baakifuna, abalala ne bakakanyazibwa, emitima,
8 nga bwe kyawandiikibwa nti, “Katonda yabawa omwoyo ogw’okubongoota, n’aleetera amaaso gaabwe obutalaba, n’amatu gaabwe obutawulira okutuusa leero.”
9 Ne Dawudi yagamba nti, “Leka ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego, era ekitimba, eky’okubatega era empeera ebasaanira.
10 Amaaso gaabwe ka gabeeko ekifu, baleme okulaba. Era batambule nga bakootakoota emirembe n’emirembe.”
11 Kale ka mbuuze, kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kikafuuwe. Naye olw’okwonoona kwabwe, obulokozi kyebwava bujja eri Abaamawanga, Abayudaaya balyoke bakwatibwe obuggya.
12 Kale obanga okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga eri ensi, n’okulemwa kwabwe nga kutegeeza bugagga eri Abaamawanga, okuganyulwa kwabwe tekulisingawo!
13 Kaakano njogera gye muli Abaamawanga, nga bwe ndi omutume eri Abaamawanga, ngulumiza obuweereza bwange,
14 singa kisoboka nkwase baganda bange obuggya abamu ku bo basobole okulokolebwa.
15 Kubanga obanga okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kulitegeeza ki, bwe kutaliwa bafu bulamu?
16 Kale kaakano obanga ekitole ky’eŋŋano ekandiddwa ne kiweebwayo ng’ekibala ekibereberye kitukuvu, n’eŋŋaano yonna ntukuvu; era obanga ekikolo kitukuvu, n’amatabi matukuvu.
17 Naye obanga amatabi agamu gaawogolebwa, ate nga ggwe eyali omuzeyituuni ogw’omu nsiko wasimbibwa ku kikolo kyagwo, n’ogabana ku bugimu bw’ekikolo ky’omuzeyituuni,
18 teweenyumiririzanga ku matabi ago; naye bwe weenyumirizanga, jjukira nga si gwe owaniridde ekikolo, naye ekikolo kye kikuwaniridde.
19 Oyinza okwogera nti, “Amatabi gaawogolwako, ndyoke nsimbibweko.”
20 Ky’oyogedde kiba kituufu. Weewaawo gaawogolwako lwa butakkiriza, kyokka ggwe onywedde lwa kukkiriza. Teweenyumirizanga, naye otyanga.
21 Kuba obanga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, nammwe ayinza obutabasaasira.
22 Kale mufumiitirize ku kisa n’obukambwe bwa Katonda. Aba mukambwe eri abo abaagwa, naye n’aba wa kisa eri ggwe, bwe weeyongera okunywerera mu kisa kye, kubanga naawe bw’otonywere oliwogolwako.
23 Era n’abo oluvannyuma bwe balikkiriza, balizzibwako ku nduli kubanga Katonda ayinza okubazaako kuli.
24 Kuba obanga ggwe mu buzaaliranwa bwo gwe eyawogolwa ku muzeyituuni, wazzibwa ku muzeyituuni ogutali gwa buzaaliranwa bo, abo ab’obuzaaliranwa tebalisinga nnyo okuzzibwa ku muzeyituuni gwabwe bo?
25 Kubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba ab’amagezi, ng’abamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira.
26 N’oluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Omulokozi aliva mu Sayuuni, era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.
27 Era eyo ye ndagaano yange nabo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”
28 Mu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe.
29 Kubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa.
30 Kuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olw’obujeemu bw’Abayudaaya,
31 bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe.
32 Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa. (eleēsē )
33 Kale nga Katonda wa kitalo, ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi; ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
34 “Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama? Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”
35 “Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu, alyoke amuddizeewo?”
36 Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali. Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina. (aiōn )