< Okubikkulirwa 9 >

1 Awo malayika owookutaano n’afuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ng’eva mu ggulu ng’egwa ku nsi era n’eweebwa ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma. (Abyssos g12)
ⲁ̅ⲡⲙⲉϩϯⲟⲩ ⲛⲁⲅⲅⲉⲗⲟⲥ ⲁϥⲥⲁⲗⲡⲓⲍⲉ ⲁⲩⲱ ⲁⲓⲛⲁⲩ ⲉⲩⲥⲓⲟⲩ ⲁϥϩⲉ ⲉⲃⲟⲗ ϩⲛ ⲧⲡⲉ ⲉϩⲣⲁⲓ ⲉϫⲙ ⲡⲕⲁϩ ⲁⲩⲱ ⲁⲩϯ ⲛⲁϥ ⲙⲡϣⲟϣⲧ ⲛⲧϣⲱⲧⲉ ⲙⲡⲛⲟⲩⲛ (Abyssos g12)
2 Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ng’oguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olw’omukka ogw’omu bunnya. (Abyssos g12)
ⲃ̅ⲁⲩⲱ ⲛⲧⲉⲣⲉϥⲟⲩⲱⲛ ⲛⲧϣⲱⲧⲉ ⲙⲡⲛⲟⲩⲛ ⲁϥⲉⲓ ⲉϩⲣⲁⲓ ϩⲛ ⲧϣⲱⲧⲉ ⲛϭⲓ ⲟⲩⲕⲁⲡⲛⲟⲥ ⲛⲑⲉ ⲛⲟⲩⲕⲁⲡⲛⲟⲥ ⲛϩⲣⲱ ⲛⲟϭ ⲁϥⲣ ⲕⲁⲕⲉ ⲛϭⲓ ⲡⲣⲏ ⲙⲛ ⲡⲁⲏⲣ ⲉⲃⲟⲗ ϩⲙ ⲡⲕⲁⲡⲛⲟⲥ ⲛⲧϣⲱⲧⲉ (Abyssos g12)
3 Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ng’enjaba ez’obusagwa.
ⲅ̅ⲁⲩⲱ ⲁϩⲉⲛϣϫⲉ ⲉⲓ ⲉϩⲣⲁⲓ ⲉϫⲙ ⲡⲕⲁϩ ⲁⲩϯ ⲛⲁⲩ ⲛⲟⲩⲉⲝⲟⲩⲥⲓⲁ ⲛⲑⲉ ⲉⲧⲉⲟⲩⲛⲧⲁⲩ ⲉⲝⲟⲩⲥⲓⲁ ⲙⲙⲁⲩ ⲛϭⲓ ⲛⲟⲩⲱϩⲉ ⲙⲡⲕⲁϩ
4 Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe.
ⲇ̅ⲁⲩϫⲟⲟⲥ ⲛⲁⲩ ϫⲉⲕⲁⲥ ⲛⲛⲉⲩⲧⲁⲕⲉ ⲡⲉⲭⲟⲣⲧⲟⲥ ⲙⲡⲕⲁϩ ⲁⲩⲱ ϣⲏⲛ ⲛⲓⲙ ⲉⲓⲙⲏⲧⲉⲓ ⲛⲣⲱⲙⲉ ⲉⲧⲉⲙⲛⲧⲁⲩ ⲙⲙⲁⲩ ⲛⲧⲉⲥⲫⲣⲁⲅⲓⲥ ⲙⲡⲛⲟⲩⲧⲉ ⲉϫⲛ ⲧⲉⲩⲧⲉϩⲛⲉ
5 Tezaagambibwa kubatta wabula okubabonyaabonya okumala emyezi etaano nga zibaluma bulumi, ng’obulumi bwazo buli ng’obuva mu kubojjebwa enjaba ez’obusagwa.
ⲉ̅ⲁⲩⲱ ⲙⲡⲟⲩⲧⲁⲁⲥ ⲛⲁⲩ ⲉⲧⲣⲉⲩⲙⲟⲟⲩⲧⲟⲩ ⲁⲗⲗⲁ ϫⲉ ⲉⲩⲉⲃⲁⲥⲁⲛⲓⲍⲉ ⲙⲙⲟⲟⲩ ⲛϯⲟⲩ ⲛⲉⲃⲟⲧ ⲁⲩⲱ ⲡⲉⲩⲧⲕⲁⲥ ⲉϥⲟ ⲛⲑⲉ ⲙⲡⲉⲧⲕⲁⲥ ⲛⲛⲟⲩⲱϩⲉ ⲉⲩϣⲁⲛϫⲉⲕ ⲟⲩⲣⲱⲙⲉ
6 Mu biro ebyo abantu balyagala okwetta naye tekirisoboka kubanga okufa kuliba kubeesamba; balyegomba okufa naye kwo, nga kubadduka buddusi!
ⲋ̅ϩⲣⲁⲓ ⲇⲉ ϩⲛ ⲛⲉϩⲟⲟⲩ ⲉⲧⲙⲙⲁⲩ ⲛⲣⲱⲙⲉ ⲛⲁϣⲓⲛⲉ ⲛⲥⲁ ⲡⲙⲟⲩ ⲛⲥⲉⲧⲙϩⲉ ⲉⲣⲟϥ ⲛⲥⲉⲉⲡⲓⲑⲩⲙⲉⲓ ⲉⲡⲙⲟⲩ ⲁⲩⲱ ⲛⲧⲉⲡⲙⲟⲩ ⲡⲱⲧ ⲛⲉϥⲕⲁⲁⲩ
7 Enzige zino zaali zifaanana ng’embalaasi ezitegekeddwa okugenda ku lutalo okulwana, ne ku mitwe gyazo nga kuli ng’okutikkiddwa engule za zaabu ate ebyenyi byazo nga biri ng’eby’abantu.
ⲍ̅ⲡⲉⲓⲛⲉ ⲇⲉ ⲛⲛⲉϣϫⲏⲩ ⲉϥⲟ ⲙⲡⲉⲓⲛⲉ ⲛϩⲉⲛϩⲧⲱⲱⲣ ⲉⲩⲥⲃⲧⲱⲧ ⲉⲡⲡⲟⲗⲉⲙⲟⲥ ⲉϣϫⲉ ⲉⲣⲉϩⲉⲛⲕⲗⲟⲙ ⲛⲛⲟⲩⲃ ϩⲓϫⲛ ⲛⲉⲩⲁⲡⲏⲩⲉ ⲉⲣⲉⲡⲉⲩϩⲟ ⲟ ⲛⲑⲉ ⲛϩⲉⲛϩⲟ ⲛⲣⲱⲙⲉ
8 Obwoya bwazo nga buli ng’enviiri z’abakazi, ate go amannyo gaazo gaali ng’ag’empologoma.
ⲏ̅ⲉⲩⲛ ϩⲉⲛϥⲱ ϩⲓϫⲱⲟⲩ ⲛⲑⲉ ⲙⲡϥⲱ ⲛⲛⲉϩⲓⲟⲟⲙⲉ ⲉⲣⲉⲛⲉⲩⲟⲃϩⲉ ⲟ ⲛⲑⲉ ⲛⲛⲁ ⲛⲉⲓⲙⲟⲩⲓ
9 Zaali zambadde eby’omu bifuba ebiri ng’eby’ebyuma, nga n’ebiwaawaatiro byazo biwuluguma ng’eddoboozi lya nnamuziga w’amagaali, ag’embalaasi ennyingi nga zifubutuka okulaga mu lutalo.
ⲑ̅ⲉⲩⲛ ϩⲉⲛϩⲱⲕ ϩⲓⲱⲟⲩ ⲛⲑⲉ ⲛϩⲉⲛϩⲱⲕ ⲙⲡⲉⲛⲓⲡⲉ ⲉⲣⲉⲡⲉϩⲣⲟⲟⲩ ⲛⲛⲉⲩⲧⲛϩ ⲟ ⲛⲑⲉ ⲙⲡⲉϩⲣⲟⲟⲩ ⲛϩⲉⲛϩⲁⲣⲙⲁ ⲙⲛ ϩⲉⲛϩⲧⲱⲱⲣ ⲉⲛⲁϣⲱⲟⲩ ⲉⲩⲡⲏⲧ ⲉⲡⲡⲟⲗⲉⲙⲟⲥ
10 Zaalina emikira egibojja ng’egy’enjaba ez’obusagwa. N’obuyinza bwazo obw’okubonyaabonya obwaziweebwa obw’emyezi etaano bwali mu mikira omwo.
ⲓ̅ⲉⲟⲩⲛ ϩⲉⲛⲥⲁⲧ ⲙⲙⲟⲟⲩ ⲉⲩⲟ ⲛⲑⲉ ⲛⲛⲁ ⲛⲟⲩⲟⲟϩⲉ ⲁⲩⲱ ϩⲉⲛⲉⲓⲃ ϩⲛ ⲛⲉⲩⲥⲁⲧ ⲧⲉⲩⲉⲝⲟⲩⲥⲓⲁ ⲧⲉ ⲉⲙⲟⲩⲕϩ ⲛⲛⲣⲱⲙⲉ ⲛϯⲟⲩ ⲛⲉⲃⲟⲧ
11 Kabaka waazo ye malayika ow’obunnya obutakoma, erinnya lye mu Lwebbulaniya ye Abadoni ate mu Luyonaani ye Apolwoni. (Abyssos g12)
ⲓ̅ⲁ̅ⲟⲩⲛⲧⲁⲩ ⲙⲙⲁⲩ ⲙⲡⲉⲩⲣⲣⲟ ⲡⲁⲅⲅⲉⲗⲟⲥ ⲙⲡⲛⲟⲩⲛ ⲉⲡⲉϥⲣⲁⲛ ⲙⲙⲛⲧϩⲉⲃⲣⲁⲓⲟⲥ ⲡⲉ ⲃⲁⲧⲧⲱⲛ ⲙⲙⲛⲧⲟⲩⲉⲉⲓⲉⲛⲓⲛ ⲇⲉ ϫⲉ ⲡⲉⲧⲧⲁⲕⲟ (Abyssos g12)
12 Eky’entiisa ekisooka ne kiyita, naye ng’ekyaliyo bya mirundi ebiri ebijja!
ⲓ̅ⲃ̅ⲉⲓⲥ ⲟⲩⲟⲓ ⲁϥⲟⲩⲉⲓⲛⲉ ⲉⲓⲥ ϩⲏⲏⲧⲉ ⲥⲉⲛⲏⲩ ⲛϭⲓ ⲕⲉⲟⲩⲟⲓ ⲥⲛⲁⲩ
13 Awo malayika ow’omukaaga n’afuuwa ekkondeere lye, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda,
ⲓ̅ⲅ̅ⲙⲛⲛⲥⲁ ⲛⲁⲓ ⲁⲡⲙⲉϩⲥⲟⲟⲩ ⲛⲁⲅⲅⲉⲗⲟⲥ ⲥⲁⲗⲡⲓⲍⲉ ⲁⲩⲱ ⲁⲓⲥⲱⲧⲙ ⲉⲩⲥⲙⲏ ⲉⲃⲟⲗ ϩⲛ ⲛⲧⲁⲡ ⲙⲡⲉⲑⲩⲥⲓⲁⲥⲧⲏⲣⲓⲟⲛ ⲛⲛⲟⲩⲃ ⲉⲧⲙⲡⲙⲧⲟ ⲉⲃⲟⲗ ⲙⲡⲛⲟⲩⲧⲉ
14 nga ligamba malayika oyo ow’omukaaga nti, “Sumulula bamalayika abana abaasibirwa ku mugga omunene Fulaati.”
ⲓ̅ⲇ̅ⲉⲥϫⲱ ⲙⲙⲟⲥ ⲙⲡⲙⲉϩⲥⲟⲟⲩ ⲛⲁⲅⲅⲉⲗⲟⲥ ⲉⲧⲉⲣⲉⲧⲥⲁⲗⲡⲓⲅⲝ ⲛⲧⲟⲟⲧϥ ϫⲉ ⲃⲱⲗ ⲉⲃⲟⲗ ⲙⲡⲉϥⲧⲟⲟⲩ ⲛⲁⲅⲅⲉⲗⲟⲥ ⲉⲧⲙⲏⲣ ϩⲓϫⲙ ⲡⲛⲟϭ ⲛⲉⲓⲉⲣⲟ ⲡⲉⲩⲫⲣⲁⲧⲏⲥ
15 Bamalayika abana abaali basibiddwa nga balindirira omwaka n’omwezi ogwo, n’olunaku olwo, n’essaawa eyo, ne basumululwa okutta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu.
ⲓ̅ⲉ̅ⲁⲩⲱ ⲁⲩⲃⲱⲗ ⲙⲡⲉϥⲧⲟⲟⲩ ⲛⲁⲅⲅⲉⲗⲟⲥ ⲛⲁⲓ ⲉⲧⲥⲃⲧⲱⲧ ⲉⲧⲉⲩⲛⲟⲩ ⲙⲛ ⲡⲉϩⲟⲟⲩ ⲙⲛ ⲡⲉⲃⲟⲧ ⲙⲛ ⲧⲉⲣⲟⲙⲡⲉ ϫⲉⲕⲁⲥ ⲉⲩⲉⲙⲟⲩⲟⲩⲧ ⲙⲡⲟⲩⲛ ϣⲟⲙⲛⲧ ⲛⲛⲣⲱⲙⲉ
16 Ne mpulira omuwendo ogw’eggye ery’abaserikale nga bali obukadde ebikumi bibiri.
ⲓ̅ⲋ̅ⲁⲩⲱ ⲧⲏⲡⲉ ⲛⲛⲉⲥⲧⲣⲁⲧⲉⲩⲙⲁ ⲛⲛⲉϩⲧⲱⲱⲣ ⲡⲉ ⲧⲃⲁ ⲛⲧⲃⲁ ⲛⲥⲉⲡⲥⲛⲁⲩ ⲁⲓⲥⲱⲧⲙ ⲉⲧⲉⲩⲏⲡⲉ
17 Ne ndaba mu kwolesebwa, ng’embalaasi n’abaali bazeebagadde nga bambadde eby’omu bifuba ebimyufu, era mwalimu n’abambadde ebya bbululu n’ebya kyenvu. Emitwe gy’embalaasi gyali gifaanana ng’egy’empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muvaamu omuliro n’omukka ne salufa.
ⲓ̅ⲍ̅ⲁⲩⲱ ⲧⲁⲓ ⲧⲉ ⲑⲉ ⲛⲧⲁⲓⲛⲁⲩ ⲉⲡⲉⲓⲛⲉ ⲛⲛⲉϩⲧⲱⲱⲣ ⲙⲛ ⲛⲉⲧⲁⲗⲉ ⲉⲣⲟⲟⲩ ⲉⲩⲛ ϩⲉⲛϩⲱⲕ ϩⲓⲱⲟⲩ ⲛⲁⲩⲁⲛ ⲛⲕⲱϩⲧ ϩⲓ ϩⲩⲁⲕⲓⲛⲑⲓⲛⲟⲛ ϩⲓ ⲑⲏⲛ ⲉⲣⲉⲛⲁⲡⲉⲩⲉ ⲛⲛⲉϩⲧⲱⲱⲣ ⲟ ⲛⲑⲉ ⲛⲛⲁⲡⲏⲩⲉ ⲛⲙⲙⲟⲩⲓ ⲉϥⲛⲏⲩ ⲉⲃⲟⲗ ϩⲛ ⲣⲱⲟⲩ ⲛϭⲓ ⲟⲩⲕⲱϩⲧ ⲙⲛ ⲟⲩⲕⲁⲡⲛⲟⲥ ⲙⲛ ⲟⲩⲑⲏⲛ
18 Ebibonyoobonyo ebyo ebisatu: Omukka n’omuliro n’obuganga ebyava mu bumwa bwazo ne bitta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu.
ⲓ̅ⲏ̅ⲉⲃⲟⲗ ϩⲛ ⲧⲉⲓϣⲟⲙⲧⲉ ⲙⲡⲗⲏⲅⲏ ⲁⲩⲙⲟⲩ ⲛϭⲓ ⲡⲟⲩⲛ ϣⲟⲙⲛⲧ ⲛⲛⲣⲱⲙⲉ ϩⲙ ⲡⲕⲱϩⲧ ⲙⲛ ⲡⲕⲁⲡⲛⲟⲥ ⲙⲛ ⲡⲉⲑⲏⲛ ⲉⲧⲛⲏⲩ ⲉⲃⲟⲗ ϩⲛ ⲣⲱⲟⲩ
19 Amaanyi gaazo ag’okutta tegaali mu bumwa bwazo mwokka, naye gaali ne mu mikira gyazo, kubanga emikira egyo gyali ng’emitwe gy’emisota, nga gye zibojjesa.
ⲓ̅ⲑ̅ⲉⲣⲉⲧⲉⲝⲟⲩⲥⲓⲁ ⲅⲁⲣ ⲛⲛⲉϩⲧⲱⲱⲣ ϩⲛ ⲣⲱⲟⲩ ⲙⲛ ⲛⲉⲩⲥⲁⲧ ⲛⲉⲩⲥⲁⲧ ⲅⲁⲣ ⲉⲩⲟ ⲛⲑⲉ ⲛϩⲉⲛϩⲟϥ ⲉⲣⲉϩⲉⲛⲁⲡⲏⲩⲉ ⲙⲙⲟⲟⲩ ⲁⲩⲱ ϩⲣⲁⲓ ⲛϩⲏⲧⲟⲩ ⲉⲩϫⲓ ⲛϭⲟⲛⲥ
20 Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lw’ebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’eby’ebikomo, n’eby’amayinja n’omuti, ebitalaba yadde okuwulira so n’okutambula tebitambula.
ⲕ̅ⲡⲕⲉⲥⲉⲡⲏ ⲇⲉ ⲛⲛⲣⲱⲙⲉ ⲉⲧⲉⲙⲡⲟⲩⲙⲟⲩ ϩⲛ ⲛⲉⲡⲗⲏⲅⲏ ⲙⲡⲟⲩⲙⲉⲧⲁⲛⲟⲓ ⲟⲛ ⲉⲃⲟⲗ ϩⲛ ⲛⲉϩⲃⲏⲩⲉ ⲛⲛⲉⲩϭⲓϫ ⲉⲧⲙⲧⲣⲉⲩⲟⲩⲱϣⲧ ⲛⲛⲇⲁⲓⲙⲱⲛⲓⲟⲛ ⲛⲛⲟⲩⲃ ⲙⲛ ⲛϩⲁⲧ ⲙⲛ ⲛϩⲟⲙⲛⲧ ⲙⲛ ⲛⲱⲛⲉ ⲙⲛ ⲛϣⲉ ⲛⲁⲓ ⲉⲧⲉⲙⲛϭⲟⲙ ⲙⲙⲟⲟⲩ ⲉⲛⲁⲩ ⲉⲃⲟⲗ ⲏ ⲉⲥⲱⲧⲙ ⲏ ⲉⲙⲟⲟϣⲉ
21 Era tebeenenya butemu bwabwe, wadde obulogo, wadde obwenzi, wadde obubbi bye baakolanga.
ⲕ̅ⲁ̅ⲟⲩⲇⲉ ⲙⲡⲟⲩⲙⲉⲧⲁⲛⲟⲓ ⲉⲃⲟⲗ ϩⲛ ⲛⲉⲩϩⲱⲧⲃ ⲙⲛ ⲛⲉⲩϩⲓⲕ ⲙⲛ ⲛⲉⲩⲡⲟⲣⲛⲓⲁ

< Okubikkulirwa 9 >