< Okubikkulirwa 7 >
1 Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna.
2 Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Katonda omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti,
3 “Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka Katonda akakulu ku byenyi by’abaweereza ba Katonda waffe.”
4 Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.
5 Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri,
6 ab’omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri,
7 ab’omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri,
8 ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri. Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.
9 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe.
10 Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe ey’obwakabaka era bwa Mwana gw’Endiga.”
11 Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka n’abakadde era n’ebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ng’ebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda.
12 Ne bayimba nti, “Amiina! Okutenderezebwa, n’ekitiibwa, n’amagezi, n’okwebazibwa, n’ettendo, n’obuyinza, n’amaanyi, bibe eri Katonda waffe emirembe n’emirembe. Amiina!” (aiōn )
13 Awo omu ku bakadde n’ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyeru obamanyi, era omanyi gye bava?”
14 Ne nziramu nti. “Mukama wange, gw’omanyi.” N’aŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga.
15 Kyebavudde “babeera wano mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda nga bamusinza emisana n’ekiro mu Yeekaalu ye. Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, anaaberanga nabo ng’abalabirira.
16 Tebaliddayo kulumwa njala wadde ennyonta, newaakubadde omusana okubookya wadde ekyokya ekirala kyonna;
17 kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka, y’anaabeeranga omusumba waabwe era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”