< Okubikkulirwa 6 >

1 Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’abembulula akamu ku bubonero bw’envumbo; ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n’eddoboozi eryawulikika ng’okubwatuka nga kigamba nti, “Jjangu!”
Καὶ εἶδον ὅτε ἤνοιξεν τὸ ἀρνίον μίαν ἐκ τῶν ἑπτὰ σφραγίδων, καὶ ἤκουσα ἑνὸς ἐκ τῶν τεσσάρων ζῴων λέγοντος ὡς φωνὴ βροντῆς, Ἔρχου·
2 Ne ndaba, era laba, embalaasi enjeru, ng’agyebagadde alina omutego ogulasa akasaale; n’aweebwa engule n’agenda ng’awangula, n’awangulira ddala.
καὶ εἶδον, καὶ ἰδοὺ ἵππος λευκός, καὶ ὁ καθήμενος ἐπ᾽ αὐτὸν ἔχων τόξον· καὶ ἐδόθη αὐτῷ στέφανος, καὶ ἐξῆλθεν νικῶν, καὶ ἵνα νικήσῃ.
3 Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kyogera nti, “Jjangu!”
Καὶ ὅτε ἤνοιξεν τὴν σφραγῖδα τὴν δευτέραν, ἤκουσα τοῦ δευτέρου ζῴου λέγοντος, Ἔρχου.
4 Ne wavaayo embalaasi endala nga myufu, eyali agyebagadde n’aweebwa ekitala ekiwanvu, n’aweebwa n’obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, n’okuleeta entalo wakati w’abantu, battiŋŋane bokka na bokka.
καὶ ἐξῆλθεν ἄλλος ἵππος πυῤῥός· καὶ τῷ καθημένῳ ἐπ᾽ αὐτὸν ἐδόθη αὐτῷ λαβεῖν τὴν εἰρήνην ἐκ τῆς γῆς, καὶ ἵνα ἀλλήλους σφάξουσιν· καὶ ἐδόθη αὐτῷ μάχαιρα μεγάλη.
5 Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akokusatu ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, “Jjangu!” Era laba, ne ndaba embalaasi enzirugavu n’eyali agyebagadde ng’akutte minzaani mu mukono gwe.
Καὶ ὅτε ἤνοιξεν τὴν σφραγῖδα τὴν τρίτην, ἤκουσα τοῦ τρίτου ζῴου λέγοντος, Ἔρχου. καὶ εἶδον, καὶ ἰδοὺ ἵππος μέλας, καὶ ὁ καθήμενος ἐπ᾽ αὐτὸν ἔχων ζυγὸν ἐν τῇ χειρὶ αὐτοῦ.
6 Ne mpulira eddoboozi eryawulikika ng’eriva wakati w’ebiramu ebina nga ligamba nti, “Omugaati gumu gugula ddinaali, ne kilo y’obuwunga bwa sayiri nayo bw’eba egula, kyokka omuzigo n’envinnyo tobyonoona.”
καὶ ἤκουσα ὡς φωνὴν ἐν μέσῳ τῶν τεσσάρων ζῴων λέγουσαν, Χοῖνιξ σίτου δηναρίου, καὶ τρεῖς χοίνικες κριθῶν δηναρίου· καὶ τὸ ἔλαιον καὶ τὸν οἶνον μὴ ἀδικήσῃς.
7 Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookuna ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu!”
Καὶ ὅτε ἤνοιξεν τὴν σφραγῖδα τὴν τετάρτην, ἤκουσα [φωνὴν] τοῦ τετάρτου ζῴου λέγοντος, Ἔρχου.
8 Ne ndaba, era laba, embalaasi ey’erangi ensiiwuukirivu n’eyali agyebagadde ng’ayitibwa Walumbe, ne Magombe n’agenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna eky’ensi, okutta n’ekitala, n’enjala, n’olumbe, n’ensolo enkambwe ez’oku nsi. (Hadēs g86)
καὶ εἶδον, καὶ ἰδοὺ ἵππος χλωρός, καὶ ὁ καθήμενος ἐπάνω αὐτοῦ, ὄνομα αὐτῷ, ὁ θάνατος, καὶ ὁ Ἅδης ἠκολούθει μετ᾽ αὐτοῦ· καὶ ἐδόθη αὐτοῖς ἐξουσία ἐπὶ τὸ τέταρτον τῆς γῆς ἀποκτεῖναι ἐν ῥομφαίᾳ καὶ ἐν λιμῷ καὶ ἐν θανάτῳ, καὶ ὑπὸ τῶν θηρίων τῆς γῆς. (Hadēs g86)
9 Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookutaano ne ndaba wansi w’ekyoto emyoyo egy’abo abattibwa olw’okubuulira ekigambo kya Katonda n’olw’okuba abeesigwa mu bujulizi bwabwe.
Καὶ ὅτε ἤνοιξεν τὴν πέμπτην σφραγῖδα, εἶδον ὑποκάτω τοῦ θυσιαστηρίου τὰς ψυχὰς τῶν ἐσφαγμένων διὰ τὸν λόγον τοῦ θεοῦ, καὶ διὰ τὴν μαρτυρίαν ἣν εἶχον,
10 Ne bakaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti, “Ayi Mukama, Omutukuvu era ow’amazima, onoosalira ddi abantu b’ensi omusango, n’owoolera eggwanga olw’omusaayi gwaffe?”
καὶ ἔκραξαν φωνῇ μεγάλῃ λέγοντες, Ἕως πότε, ὁ δεσπότης ὁ ἅγιος καὶ ἀληθινός, οὐ κρίνεις καὶ ἐκδικεῖς τὸ αἷμα ἡμῶν ἐκ τῶν κατοικούντων ἐπὶ τῆς γῆς;
11 Buli omu ku bo n’aweebwa ekyambalo ekyeru, era ne bagambibwa okugira nga bawummulako okutuusa baganda baabwe abalala era baweereza bannaabwe aba Yesu abaali bagenda okuttibwa, lwe balibeegattako.
καὶ ἐδόθη αὐτοῖς ἑκάστῳ στολὴ λευκή, καὶ ἐῤῥέθη αὐτοῖς ἵνα ἀναπαύσονται ἔτι χρόνον μικρόν, ἕως πληρώσωσιν καὶ οἱ σύνδουλοι αὐτῶν καὶ οἱ ἀδελφοὶ αὐτῶν, οἱ μέλλοντες ἀποκτέννεσθαι ὡς καὶ αὐτοί.
12 Awo ne ndaba ng’abembulula akabonero k’envumbo ak’omukaaga; ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo, era enjuba n’eddugala n’efuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekyakolebwa mu bwoya, n’omwezi gwonna ne gumyuka ng’omusaayi.
Καὶ εἶδον ὅτε ἤνοιξεν τὴν σφραγῖδα τὴν ἕκτην· καὶ σεισμὸς μέγας ἐγένετο, καὶ ὁ ἥλιος ἐγένετο μέλας ὡς σάκκος τρίχινος, καὶ ἡ σελήνη ὅλη ἐγένετο ὡς αἷμα,
13 Awo emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi ng’omutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga ow’amaanyi,
καὶ οἱ ἀστέρες τοῦ οὐρανοῦ ἔπεσαν εἰς τὴν γῆν, ὡς συκῆ βάλλει τοὺς ὀλύνθους αὐτῆς, ὑπὸ ἀνέμου μεγάλου σειομένη·
14 n’eggulu ne lyezingako ng’omuzingo gw’ekitabo bwe gwezingazinga na buli lusozi na buli kizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.
καὶ ὁ οὐρανὸς ἀπεχωρίσθη ὡς βιβλίον ἑλισσόμενον, καὶ πᾶν ὄρος καὶ νῆσος ἐκ τῶν τόπων αὐτῶν ἐκινήθησαν·
15 Bakabaka b’ensi, n’abafuzi ab’oku ntikko n’abantu abagagga, n’abakulu b’amaggye n’ab’amaanyi, na buli muddu n’ow’eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi z’ensozi.
καὶ οἱ βασιλεῖς τῆς γῆς, καὶ οἱ μεγιστᾶνες, καὶ οἱ χιλίαρχοι, καὶ οἱ πλούσιοι, καὶ οἱ ἰσχυροί, καὶ πᾶς δοῦλος καὶ ἐλεύθερος ἔκρυψαν ἑαυτοὺς εἰς τὰ σπήλαια καὶ εἰς τὰς πέτρας τῶν ὀρέων,
16 Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne mu busungu bw’Omwana gw’Endiga.
καὶ λέγουσιν τοῖς ὄρεσιν καὶ ταῖς πέτραις, Πέσετε ἐφ᾽ ἡμᾶς, καὶ κρύψατε ἡμᾶς ἀπὸ προσώπου τοῦ καθημένου ἐπὶ τοῦ θρόνου, καὶ ἀπὸ τῆς ὀργῆς τοῦ ἀρνίου·
17 Kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse era ani ayinza okugumira obusungu bwabwe!”
ὅτι ἦλθεν ἡ ἡμέρα ἡ μεγάλη τῆς ὀργῆς αὐτῶν, καὶ τίς δύναται σταθῆναι;

< Okubikkulirwa 6 >