< Okubikkulirwa 4 >
1 Laba, oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira n’eddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ng’eryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.”
After this I loked and beholde a dore was open in heven and the fyrste voyce which I harde was as it were of a trompet talkinge with me which said: come vp hydder and I will shewe the thynges which must be fulfyllyd hereafter
2 Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe ey’obwakabaka ng’etegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko.
And immediatly I was in the sprete: and beholde a seate was put in heven and one sate on the seate.
3 Eyali agituddeko yali ayakaayakana ng’amayinja ag’omuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ng’entebe eyo yeetooloddwa musoke ng’ayakaayakana nga zumaliidi.
And he that sat was to loke apo like vnto a iaspar stone and a sardyne stone: And there was a rayne bowe aboute the seate in syght lyke to an Emeralde.
4 Entebe ey’obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe.
And aboute the seate were. xxiiii. seates. And upon the seates. xxiiii. elders syttinge clothed in whyte rayment and had on their heddes crounes of gold.
5 Mu ntebe eyo ey’obwakabaka ne muvaamu okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka. Mu maaso g’entebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gy’emyoyo omusanvu egya Katonda.
And out of the seate proceded lightnynges and thundrynges and voyces and there wer vii. lampes of fyre burninge before ye seate which are the vii. sprettes of God.
6 Ne mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola.
And before the seate there was a see of glasse lyke vnto cristall and in the myddes of the seate and rounde aboute the seate were iiii. bestes full of eyes before and behynde.
7 Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka.
And the fyrste best was lyke a lion the seconde best lyke a calfe and ye thyrde beste had a face as a man and the fourthe beste was like a flyinge egle.
8 Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,
And the iiii. bestes had eche one of them vi. wynges aboute him and they were full of eyes with in. And they had noo reste daye nether nyght sayinge: holy holy holy lorde god almyghty which was and is and is to come.
9 Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo n’okwebaza, Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, (aiōn )
And when those beestes gave glory and honour and thankes to him that sat on the seate which lyveth for ever and ever: (aiōn )
10 abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, omulamu emirembe n’emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g’entebe eyo, nga bwe bagamba nti, (aiōn )
the xxiiii. elders fell doune before him that sat on the trone and worshipped him that lyveth for ever and caste their crounes before the trone sayinge: (aiōn )
11 “Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”
thou arte worthy lorde to receave glory and honoure and power for thou haste created all thinges and for thy wylles sake they are and were created.