< Okubikkulirwa 3 >

1 “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Saadi wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda n’emmunyeenye omusanvu nti, Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu.
Ecris aussi à l'ange de l'Église de SARDES: Voici ce que dit celui qui a les sept esprits de Dieu, et les sept étoiles: Je connais tes œuvres; tu as la réputation d'être vivant; mais tu es mort.
2 Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu by’okola sinnalabamu by’otuukiriza mu maaso ga Katonda wange.
Sois vigilant, et affermis le reste qui s'en va mourir; car je n'ai point trouvé tes œuvres parfaites devant Dieu.
3 Kale jjukira bye wayigirizibwa ne bye wawulira obikwate era weenenye. Bw’otegendereze ndijja mangu ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli.
Souviens-toi donc de ce que tu as reçu et entendu, garde-le, et te repens. Que si tu ne veilles pas, je viendrai vers toi comme un larron, et tu ne sauras point à quelle heure je viendrai vers toi.
4 Naye waliwo abamu mu Saadi abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe, balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde.
Tu as aussi à Sardes quelque peu de personnes qui n'ont point souillé leurs vêtements, et qui marcheront avec moi en vêtements blancs, car ils en sont dignes.
5 Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky’obulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti oyo muntu wange.
Celui qui vaincra, sera vêtu de vêtements blancs, et je n'effacerai point son nom du livre de vie; et je confesserai son nom devant mon Père et devant ses anges.
6 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
Que celui qui a des oreilles, écoute ce que l'Esprit dit aux Églises.
7 “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo Omutukuvu era ow’amazima era alina ekisumuluzo kya Dawudi aggulawo ne wataba aggalawo, n’okuggalawo ne wataba aggulawo.
Écris aussi à l'ange de l'Église de PHILADELPHIE: Voici ce que dit le Saint, le Véritable, celui qui a la clef de David; qui ouvre, et personne ne ferme; et qui ferme, et personne n'ouvre:
8 Mmanyi ebikolwa byo. Laba nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw’atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, okuumye ekigambo kyange n’oteegaana linnya lyange,
Je connais tes œuvres; voici, j'ai ouvert une porte devant toi, et personne ne peut la fermer; parce que tu as peu de force, que tu as gardé ma parole, et que tu n'as point renié mon nom.
9 laba nnyinza okuwaayo abamu ku abo ab’omu kuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya; laba ndibaleeta okuvuunama ku bigere byammwe bategeere nti mbaagala.
Voici, je t'en donnerai de la synagogue de Satan, qui se disent Juifs, et qui ne le sont point, mais qui mentent; voici, je les ferai venir, afin qu'ils se prosternent à tes pieds, et qu'ils connaissent que je t'ai aimée.
10 Olwokubanga wakwata ekigambo kyange eky’okugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera eky’okugezesebwa ekinaatera okujja.
Parce que tu as gardé la parole de ma patience, moi-même je te garderai de l'heure de la tentation qui doit venir sur le monde entier, pour éprouver les habitants de la terre.
11 Nzija mangu! Nnyweza ky’olina waleme kubaawo akutwalako ngule yo.
Je viens bientôt; tiens ferme ce que tu as, afin que personne ne prenne ta couronne.
12 Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, mw’ataliva emirembe gyonna, era ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu eri Katonda wange n’erinnya lyange eriggya.
Celui qui vaincra, je ferai de lui une colonne dans le temple de mon Dieu, et il n'en sortira plus; et j'écrirai sur lui le nom de mon Dieu, et le nom de la cité de mon Dieu, de la nouvelle Jérusalem, qui descend du ciel, d'auprès de mon Dieu, et mon nouveau nom.
13 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
Que celui qui a des oreilles, écoute ce que l'Esprit dit aux Églises.
14 “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Lawodikiya wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo Amiina, omujulirwa, omwesigwa, ow’amazima, omukulu w’abaliwo, n’abalibaawo emirembe gyonna, era ensibuko y’ebitonde bya Katonda.
Écris aussi à l'ange de l'Église de LAODICÉE: Voici ce que dit l'Amen, le Témoin fidèle et véritable, le Principe de la création de Dieu:
15 Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ng’oyokya oba ng’onnyogoga.
Je connais tes œuvres; je sais que tu n'es ni froid ni bouillant. Oh! si tu étais froid ou bouillant!
16 Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange.
Ainsi, parce que tu es tiède, ni froid, ni bouillant, je te vomirai de ma bouche.
17 Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso n’otomanya ng’oli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe w’amaaso era ali obwereere.
Car tu dis: Je suis riche, je me suis enrichi, et je n'ai besoin de rien; et tu ne connais pas que tu es malheureux, et misérable, et pauvre, et aveugle, et nu.
18 Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ez’okuyita obwereere; onguleko n’omuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba.
Je te conseille d'acheter de moi de l'or éprouvé par le feu, pour devenir riche; et des vêtements blancs, pour être vêtu, et que la honte de ta nudité ne paraisse point, et un collyre pour oindre tes yeux, afin que tu voies.
19 Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya.
Je reprends et je châtie tous ceux que j'aime; aie donc du zèle, et te repens.
20 Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange n’aggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.
Voici, je me tiens à la porte, et je frappe; si quelqu'un entend ma voix et m'ouvre la porte, j'entrerai chez lui, et je souperai avec lui, et lui avec moi.
21 Buli awangula ndimukkiriza okutuula ng’anninaanye, ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye.
Celui qui vaincra, je le ferai asseoir avec moi sur mon trône, comme moi j'ai vaincu et suis assis avec mon Père sur son trône.
22 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.”
Que celui qui a des oreilles, écoute ce que l'Esprit dit aux Églises.

< Okubikkulirwa 3 >