< Okubikkulirwa 22 +
1 Awo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga,
Et ostendit mihi fluvium aquae vivae, splendidum tamquam crystallum, procedentem de sede Dei et Agni.
2 nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga.
In medio plateae eius, et ex utraque parte fluminis lignum vitae, afferens fructus duodecim, per menses singulos reddens fructum suum, et folia ligni ad sanitatem Gentium.
3 Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza,
Et omne maledictum non erit amplius: sed sedes Dei, et Agni in illa erunt, et servi eius servient illi.
4 era banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe.
Et videbunt faciem eius: et nomen eius in frontibus eorum.
5 Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe. (aiōn )
Et nox ultra non erit: et non egebunt lumine lucernae, neque lumine solis, quoniam Dominus Deus illuminabit illos, et regnabunt in saecula saeculorum. (aiōn )
6 Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”
Et dixit mihi: Haec verba fidelissima sunt, et vera. Et Dominus Deus spirituum prophetarum misit Angelum suum ostendere servis suis quae oportet fieri cito.
7 “Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.”
Et ecce venio velociter. Beatus, qui custodit verba prophetiae libri huius.
8 Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga;
Et ego Ioannes, qui audivi, et vidi haec. Et postquam audissem, et vidissem, cecidi ut adorarem ante pedes angeli, qui mihi haec ostendebat:
9 kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”
et dixit mihi: Vide ne feceris: conservus enim tuus sum, et fratrum tuorum prophetarum, et eorum, qui servant verba prophetiae libri huius: Deum adora.
10 Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira.
Et dicit mihi: Ne signaveris verba prophetiae libri huius: tempus enim prope est.
11 Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.
Qui nocet, noceat adhuc: et qui in sordibus est, sordescat adhuc: et qui iustus est, iustificetur adhuc: et sanctus, sanctificetur adhuc.
12 “Laba, nzija mangu nsasule buli omu ng’ebikolwa bye bwe biri.
Ecce venio cito, et merces mea mecum est, reddere unicuique secundum opera sua.
13 Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.
Ego sum alpha, et omega, primus, et novissimus, principium, et finis.
14 “Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa obuyinza okuyingira mu miryango gy’ekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogw’obulamu.
Beati, qui lavant stolas suas in sanguine Agni: ut sit potestas eorum in ligno vitae, et per portas intrent in civitatem.
15 Ebweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba.
Foris canes, et venefici, et impudici, et homicidae, et idolis servientes, et omnis, qui amat, et facit mendacium.
16 “Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”
Ego Iesus misi Angelum meum, testificari vobis haec in Ecclesiis. Ego sum radix, et genus David, stella splendida, et matutina.
17 Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.
Et spiritus, et sponsa dicunt: Veni. Et qui audit, dicat: Veni. Et qui sitit, veniat: et qui vult, accipiat aquam vitae, gratis.
18 Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
Contestor enim omni audienti verba prophetiae libri huius: Si quis apposuerit ad haec, apponet Deus super illum plagas scriptas in libro isto.
19 Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.
Et si quis diminuerit de verbis libri prophetiae huius, auferet Deus partem eius de libro vitae, et de civitate sancta, et de his, quae scripta sunt in libro isto.
20 Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!” Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!
dicit qui testimonium perhibet istorum. Etiam venio cito: Amen. Veni Domine Iesu.
21 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.
Gratia Domini nostri Iesu Christi cum omnibus vobis. Amen.