< Okubikkulirwa 21 >

1 Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo.
And I saw a new heaven and a new earth; for the first heaven and the first earth had passed away, and the sea was no more.
2 Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe.
And I saw the holy city, new Jerusalem, coming down out of heaven from God, prepared as a bride adorned for her husband.
3 Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.
And I heard a loud voice out of the throne, saying, Behold, the tabernacle of God is with men, and he will dwell with them, and they will be his people, and God himself will be with them, their God;
4 Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”
and God will wipe away every tear from their eyes, and death shall be no more, neither shall mourning, nor crying, nor pain he any more; for the former things are passed away.
5 Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era n’aŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!”
And he that sat upon the throne said, Behold, I make all things new. And he saith, Write; for these words are faithful and true.
6 N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa.
And he said to me, All things are accomplished. I am the Alpha and the Omega, the beginning and the end. To him that thirsteth I will give of the fountain of the water of life freely.
7 Buli awangula alifuna ebyo byonna ng’omugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.
He that overcometh shall inherit these things, and I will be his God, and he shall be my son.
8 Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.” (Limnē Pyr g3041 g4442)
But the cowardly, and unbelieving, and the polluted with abominations, and murderers, and fornicators, and sorcerers, and idolaters, and all the liars, shall have their part in the lake which burneth with fire and brimstone; which is the second death. (Limnē Pyr g3041 g4442)
9 Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu eby’enkomerero n’ajja n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole w’Omwana gw’Endiga.”
And there came one of the seven angels who had the seven vials filled with the seven last plagues, and talked with me, saying, Come hither; I will show thee the bride, the wife of the Lamb.
10 N’antwala ku ntikko y’olusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; n’andaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,
And he carried me away in the Spirit to a great and high mountain, and showed me the holy city, Jerusalem, coming down out of heaven from God,
11 nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ng’ejjinja ery’omuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja.
having the glory of God; her light was like to a most precious stone, as it were a jasper stone, clear as crystal;
12 Bbugwe waakyo yali mugazi era nga mugulumivu, ng’aliko emiryango kkumi n’ebiri era nga gikuumibwa bamalayika kkumi na babiri, n’amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri nga gawandiikibbwa ku miryango egyo.
having a wall great and high; having twelve gates, and at the gates twelve angels, and names written thereon, which are the names of the twelve tribes of the sons of Israel;
13 Ku luuyi olw’ebuvanjuba kwaliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikakkono nga kuliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo nga kuliko emiryango esatu, era ne ku luuyi olw’obugwanjuba nga kuliko emiryango esatu.
on the east, three gates; and on the north, three gates; and on the south, three gates; and on the west, three gates.
14 Bbugwe yaliko amayinja ag’omusingi kkumi n’abiri ag’abatume b’Omwana gw’Endiga.
And the wall of the city had twelve foundation-stones, and on them the twelve names of the twelve apostles of the Lamb.
15 Malayika eyali ayogera nange yali akutte mu mukono gwe omuggo ogwa zaabu ogupimisibwa, apime ekibuga, emiryango gyakyo era ne bbugwe waakyo.
And he who talked with me had for a measure a golden reed, to measure the city, and the gates thereof, and the wall thereof.
16 Ekibuga kyali kyenkanankana enjuuyi zonna, n’obuwanvu nabwo nga bwenkana n’obugazi awamu n’obukiika. Byonna byali bipima kilomita enkumi bbiri mu ebikumi bina, buli kimu nga kyenkanankana ne kinnaakyo.
And the city lieth four-square, and its length is as great as its breadth. And he measured the city with the reed, twelve thousand furlongs. The length and the breadth and the height of it are equal.
17 Ate n’apima ne bbugwe waakyo ne kiweza mita nkaaga mu mukaaga ng’ekipimo ky’omuntu bwe kiri ng’apimye, awamu n’eky’abamalayika.
And he measured the wall thereof, a hundred and forty-four cubits, according to a man's measure, which is that of an angel.
18 Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n’amayinja agayesipi nga n’ekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ng’endabirwamu ennungi.
And the material of its wall was jasper; and the city was of pure gold, like to clear glass.
19 Emisingi gya bbugwe w’ekibuga nga giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n’amayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala,
The foundation-stones of the wall of the city were adorned with all manner of precious stones: the first foundation-stone was jasper; the second, sapphire; the third, chalcedony; the fourth, emerald;
20 ogwokutaano aga sadonukisi, ogw’omukaaga sadiyo, ogw’omusanvu aga kerusoliso, ogw’omunaana aga berulo, ogw’omwenda aga topazi, ogw’ekkumi aga kerusoperaso, ogw’ekkumi n’ogumu aga kuwakinso, n’ogw’ekkumi n’ebiri aga amesusito.
the fifth, sardonyx; the sixth, sardius; the seventh, chrysolite; the eighth, beryl; the ninth, topaz; the tenth, chrysoprasus; the eleventh, hyacinth; the twelfth, amethyst.
21 Ate emiryango ekkumi n’ebiri gyakolebwa n’amayinja ag’omuwendo aga luulu ennungi kkumi n’abiri, nga buli mulyango gukoleddwa n’ejjinja lya luulu limu. Ate lwo oluguudo olunene olw’ekibuga lwali lwa zaabu ennungi etangalijja ng’endabirwamu.
And the twelve gates were twelve pearls; every several gate was of one pearl. And the street of the city was pure gold, like transparent glass.
22 Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu n’Omwana gw’Endiga, bo ye yeekaalu yaakyo.
And I saw no temple therein; for the Lord God Almighty is its temple, and the Lamb.
23 Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo.
And the city hath no need of the sun, nor of the moon, to shine upon it; for the glory of God lightened it, and the Lamb is the light thereof.
24 Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa.
And the nations will walk by the light of it; and the kings of the earth bring their glory into it;
25 Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro.
and the gates of it shall not be shut by day, for there will be no night there;
26 Kirifuna ekitiibwa n’ettendo eby’amawanga.
and they will bring the glory and the honor of the nations into it.
27 Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.
And there shall not enter into it anything unclean, or that worketh abomination and falsehood; but only they that are written in the Lamb's book of life.

< Okubikkulirwa 21 >