< Okubikkulirwa 18 >

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu n’obuyinza obungi ennyo era ensi n’eyakaayakana olw’ekitiibwa kye yalina.
Après cela, je vis descendre du ciel un autre ange, qui avait une grande puissance; et la terre fut illuminée de sa gloire.
2 N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde! Kifuuse empuku ya baddayimooni, n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu, n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu, n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.
Il cria d’une voix forte, disant: « Elle est tombée, elle est tombée, Babylone la grande! Elle est devenue une habitation de démons, un séjour de tout esprit impur, un repaire de tout oiseau immonde et odieux,
3 Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe. Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye. Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya.”
parce que toutes les nations ont bu du vin de la fureur de son impudicité, que les rois de la terre se sont souillés avec elle, et que les marchands de la terre se sont enrichis par l’excès de son luxe. »
4 Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti, “‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’ muleme kwegatta mu bibi bye, muleme kubonerezebwa wamu naye.
Et j’entendis du ciel une autre voix qui disait: « Sortez du milieu d’elle, ô mon peuple, afin de ne pas participer à ses péchés, et de n’avoir pas part à ses calamités;
5 Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu, era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe.
car ses péchés se sont accumulés jusqu’au ciel, et Dieu s’est souvenu de ses iniquités.
6 Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala; mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi. Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.
Payez-la comme elle-même a payé, et rendez-lui au double selon ses œuvres; dans la coupe où elle a versé à boire, versez-lui le double;
7 Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya, bw’otyo bw’oba omubonereza era omunakuwaze, kubanga ayogera mu mutima gwe nti, ‘Ntudde nga kabaka omukazi, siri nnamwandu, era sirina nnaku.’
autant elle s’est glorifiée et plongée dans le luxe, autant donnez-lui de tourment et de deuil. Parce qu’elle dit en son cœur: Je trône en reine; je ne suis pas veuve et ne connaîtrai pas le deuil!
8 Noolwekyo ebibonyoobonyo eby’okufa n’okukaaba n’enjala birimujjira mu lunaku lumu, era alizikirizibwa n’omuliro; kubanga Mukama Katonda amusalidde omusango.
à cause de cela, en un même jour, les calamités fondront sur elle, la mort, le deuil et la famine, et elle sera consumée par le feu; car il est puissant le [Seigneur] Dieu qui l’a jugée. »
9 “Bakabaka ab’omu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mw’alyokerwa.
Les rois de la terre qui se sont livrés avec elle à l’impudicité et au luxe, pleureront et se lamenteront sur son sort, quand ils verront la fumée de son embrasement.
10 Baliyimirira wala nga bakankana olw’okutya era nga boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu! Ekibuga eky’amaanyi, Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’
Se tenant à distance, par crainte de ses tourments, ils diront: « Malheur! Malheur! O grande ville, Babylone, ô puissante cité, en une heure est venu ton jugement! »
11 “Abasuubuzi b’omu nsi balimukaabira nga bamukungubagira kubanga nga tewakyali abagulako byamaguzi byabwe.
Et les marchands de la terre pleurent et sont dans le deuil à son sujet, parce que personne n’achète plus leur cargaison:
12 Ebyamaguzi ebya zaabu, n’ebya ffeeza, n’eby’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, n’eby’engoye eza linena, n’eza kakobe, n’eza liiri, n’emyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, n’ebintu eby’amasanga, na buli kika eky’emiti egy’omuwendo ennyo, n’ebikomo, n’ebyuma awamu n’amayinja aga mabbo;
cargaison d’or, d’argent, de pierres précieuses, de perles, de lin fin, de pourpre, de soie et d’écarlate, et le bois de senteur de toute espèce, et toute sorte d’objets d’ivoire, et toute sorte d’objets de bois très précieux, d’airain, de fer et de marbre,
13 n’ebyakaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envinnyo, n’amafuta, n’obuwunga bw’eŋŋaano obulungi; n’ente, n’endiga; n’embalaasi, n’amagaali; n’abaddu n’emyoyo gyabwe.
et la cannelle, les parfums, la myrrhe, l’encens, le vin, l’huile, la fleur de farine, le blé, les bestiaux, les brebis, et des chevaux, et des chars, et des corps et des âmes d’hommes.
14 “Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna eby’omuwendo omungi n’eby’okwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.”
— Les fruits dont tu faisais tes délices s’en sont allés loin de toi; toutes les choses délicates et magnifiques sont perdues pour toi, et tu ne les retrouveras plus. —
15 Bwe batyo abasuubuzi abaagaggawala olw’okubaguza ebintu bino, baliyimirira wala nga nabo batya, olw’okutya okubonaabona kwe, n’okukaaba kwe, n’okunakuwala kwe,
Les marchands de ces produits, qui se sont enrichis avec elle, se tiendront à distance par crainte de ses tourments; ils pleureront et se désoleront,
16 nga bagamba nti, “‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu, ekifaanana ng’omukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, n’eza kakobe, n’emyufu, era ng’ataddemu eby’omu bulago ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu.
disant: « Malheur! Malheur! O grande ville, qui était vêtue de fin lin, de pourpre et d’écarlate, et qui était richement parée d’or, de pierres précieuses et de perles, en une heure ont été dévastées tant de richesses! »
17 Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!’ “Era abo bonna abalina emmeeri ez’eby’obusuubuzi awamu n’abagoba baazo, n’abo abazikolamu, baayimirira wala.
Et tous les pilotes, et tous ceux qui naviguent vers la ville, les matelots et tous ceux qui exploitent la mer, se tenaient à distance,
18 Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’
et ils s’écriaient en voyant la fumée de son embrasement: « Que pouvait-on comparer à cette grande ville? »
19 Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti, “‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu! Kyabagaggawaza bonna abaalina ebyombo ku lubalama lw’ennyanja olw’obugagga obwakirimu, naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.’
Et ils jetaient de la poussière sur leur tête, et ils criaient en pleurant et en se désolant: « Malheur! Malheur! La grande ville dont l’opulence a enrichi tous ceux qui avaient des vaisseaux sur la mer, en une heure elle a été réduite en désert! »
20 “Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olw’okubonerezebwa kwe, nammwe abatukuvu ne bannabbi n’abatume musanyuke. Kubanga Katonda amusalidde omusango ku lwammwe.”
Réjouis-toi sur elle, ô ciel, et vous aussi, les saints, les apôtres et les prophètes; car, en la jugeant, Dieu vous a fait justice.
21 Awo malayika omu ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene eriri ng’olubengo n’alisuula mu nnyanja nga bw’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Bwe kityo Babulooni, ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi n’amaanyi, era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.
Alors un ange puissant prit une pierre semblable à une grande meule, et la lança dans la mer, en disant: « Ainsi sera soudain précipitée Babylone, la grande ville, et on ne la retrouvera plus.
22 Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi, n’abakubi b’ennanga n’ery’abafuuyi b’endere, n’ery’abafuuyi b’eŋŋombe. Mu ggwe temulisangibwamu muweesi wadde okuweesa okw’engeri yonna, newaakubadde okuvuga kw’olubengo nga basa tekuliwulirwa mu ggwe.
En toi on n’entendra plus les sons des joueurs de harpe, des musiciens, des joueurs de flûte et de trompette; en toi on ne trouvera plus d’artisan d’aucun métier, et le bruit de la meule ne s’y fera plus entendre;
23 Ekitangaala ky’ettabaaza ng’eyaka tekirirabikira mu ggwe nate, kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna, era walimbalimba amawanga gonna n’eby’obulogo bwo.
on n’y verra plus briller la lumière de la lampe; on n’y entendra plus la voix de l’époux et de l’épouse: parce que tes marchands étaient les grands de la terre, parce que toutes les nations ont été égarées par tes enchantements.
24 Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi, n’abo bonna abattibwa ku nsi.”
Et c’est dans cette ville qu’on a trouvé le sang des prophètes et des saints, et de tous ceux qui ont été égorgés sur la terre. »

< Okubikkulirwa 18 >