< Okubikkulirwa 17 >

1 Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu n’ajja n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi.
And there cam one of the seven angels which had the seven vialles and talked with me sayinge vnto me: come I will shewe the the iudgment of the grett whore that sytteth apon many waters
2 Bakabaka ab’oku nsi bayenda naye n’abantu ab’oku nsi banywa omwenge ogw’obwenzi bwe ne batamiira.”
with whome have commytted fornicacion the kynges of the erth so that the inhabiters of the erth are droken with the wyne of her fornicacion.
3 Bw’atyo malayika n’antwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ng’atudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda.
And he caryed me a waye into the wildernes in the sprete. And I sawe a woman sytt apon a rose colored best full of names of blaphemie which had ten hornes.
4 Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu n’olwa kakobe era ng’alina n’ebintu ebirala eby’omuwendo, nga zaabu n’amayinja ag’omuwendo, era ng’akutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde eby’omuzizo byonna eby’obwenzi bwe.
And the woman was arayed in purple and rose color and decked with golde precious stone and pearles and had a cup of golde in her honde full of a hominacions and fylthynes of her fornycacion.
5 Ebiwandiiko eby’ekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti: Babulooni Ekibuga Ekikulu Nnyina wa Bamalaaya bonna, era Nnyina w’Eby’emizizo mu nsi.
And in her forhed was a name wrytten a mistery gret Babylon the mother of whordome and abominacions of the erth.
6 Ne ndaba omukazi ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, awamu n’ogw’abajulirwa abattibwa olwa Yesu. Bwe namulaba ne neewuunya.
And I sawe the wyfe dronke with the bloud of saynctes and with the bloud of the witnesses of Iesu. And when I sawe her I wondred with grett mervayle.
7 Malayika n’ambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama eby’omukazi oyo era n’ekisolo kw’atudde ekirina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi.
And the angell sayde vnto me: wherfore mervayllyst thou? I wyll shewe the ye mistery of the woman and of the best that berith her which hath seven heddes and ten hornes.
8 Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo. (Abyssos g12)
The best that thou seest was and is not and shall ascende out of the bottomlesse pytt and shall goo into perdicion and they that dwell on the erth shall wondre (whose names are not wrytten in the boke of lyfe from ye begynnynge of the worlde) when they beholde the best that was and ys nott. (Abyssos g12)
9 “Kale kyetaaga amagezi n’okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kw’atudde, era be bakabaka omusanvu.
And here ys a mynde that hath wisdome. The seven heddes are seven mountaynes on which the woman sytteth:
10 Abataano baagwa, omu y’aliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bw’anajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono.
they are also seven kynges. Fyve are fallen and on ys and onother is not yet come. Whe he cometh he muste contynew a space.
11 Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, ky’eky’omunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.
And the beste that was and ys not is even the ayght and ys one of the seven and shall goo into destruccion.
12 “Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu n’ekisolo okumala essaawa emu.
And the ten hornes which thou seist are ten kynges which have receaved no kyngdome but shall receave power as kynges at one houre with the beest.
13 Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi n’obuyinza bwabwe.
These have one mynde and shall geve their power and strenghte vnto ye beste.
14 Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gw’Endiga, kyokka Omwana gw’Endiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”
These shall fyght with the lambe and the lambe shall overcome them: For he is lorde of lordes and kynge of kynges: and they that are on hys syde are called and chosen and faythfull.
15 Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kw’atudde, be bantu n’ebibinja by’abantu aba buli kika n’aba buli lulimi.
And he sayde vnto me: the waters which thou sawest where the whore syttith are people and folke and nacions and tonges.
16 Ekisolo n’amayembe ekkumi bye walaba birikyawa omukazi oyo ne bimulumba ne bimulwanyisa, era birimuleka bwereere nga talina ky’ayambadde ne birya omubiri gwe, ne bimwokya n’omuliro.
And the ten hornes which thou sawest apon the best are they that shall hate the whore and shall make her desolate and naked and shall eate their flesshe and burne her with fyre.
17 Kubanga Katonda ye yakibiwa bituukirize ebyo bye yasiima okukola, n’okukola n’omwoyo gumu n’okuwa obwakabaka bwabwe ekisolo ekyo okutuusa ekigambo kya Katonda lwe kirituukirira.
For God hathe put in their hertes to fulfyll hys wyll and to do with one consent for to geve hir kyngdom vnto the beast vntill the wordes of God be fulfylled.
18 Ate omukazi gwe walabye, ky’ekibuga ekikulu ekifuga bakabaka bonna ab’oku nsi.”
And the woman which thou sawest ys that gret cyte which raigneth over the kynges of the erth.

< Okubikkulirwa 17 >