< Okubikkulirwa 15 >
1 Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire.
I vidjeh drugo znamenje na nebu, veliko i čudesno: sedam anđela sa sedam zala posljednjih - s njima se navršuje gnjev Božji.
2 Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa.
I vidjeh kao neko more od prozirca pomiješano s ognjem. Oni koji pobijediše Zvijer i kip njezin i broj imena njezina stoje u moru od prozirca s citrama Božjim u ruci.
3 Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti, “Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna. Amakubo go matukuvu era ga mazima, ayi ggwe Kabaka w’amawanga.
Pjevaju pjesmu Mojsija, sluge Božjega, i pjesmu Jaganjčevu: “Velika su i čudesna djela tvoja, Gospodine, Bože, Svevladaru! Pravedni su i istiniti putovi tvoji, Kralju naroda!
4 Ani ataakutye Ayi Mukama, n’atagulumiza linnya lyo? Ggwe wekka gwe Mutukuvu, amawanga gonna galijja ne gasinziza mu maaso go, Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”
Tko da te se ne boji, Gospodine, tko da ne slavi ime tvoje! Ti si jedini svet! I zato svi će narodi doći i klanjati se pred tobom jer se očitovahu pravedna djela tvoja!”
5 Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba Yeekaalu ng’eggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro ly’obujulirwa mu ggulu.
Nakon toga vidjeh: otvori se hram Šatora svjedočanstva na nebu!
6 Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu.
Iziđe sedam anđela sa sedam zala iz hrama; odjeveni bijahu u blistav bijeli lan, oko prsiju opasani zlatnim pojasom.
7 Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe n’emirembe. (aiōn )
Jedno od četiri bića dade sedmorici anđela sedam zlatnih čaša, punih gnjeva Boga koji živi u vijeke vjekova. (aiōn )
8 Awo Yeekaalu n’ejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda n’emu maanyi ge, so tewaali muntu n’omu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.
I hram se napuni dimom od Slave Božje i od njegove snage te nitko ne mogaše ući u hram dok se ne navrši sedam zala sedmorice anđela.