< Okubikkulirwa 11 >
1 Ne mpeebwa olumuli oluli ng’omuggo okupima ne ŋŋambibwa nti, “Golokoka opime Yeekaalu ya Katonda n’ekyoto n’abo abasinziza mu Yeekaalu.
2 Naye oluggya olw’ebweru lwo tolupima kubanga luweereddwayo eri amawanga, era balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
3 Era ndiwa abajulirwa bange ababiri nga bambadde ebibukutu ne bawa obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga.”
4 Abajulirwa abo ababiri gy’emiti emizeeyituuni ebiri era ebikondo by’ettaala ebibiri, abayimirira mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
5 Omuntu yenna agezaako okubakolako akabi azikirizibwe n’omuliro oguva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe; era omuntu yenna bw’ayagala okubakolako akabi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa.
6 Balina obuyinza okuggalawo eggulu enkuba n’etetonnya mu nnaku ez’obunnabbi bwabwe, era balina n’obuyinza okufuula amazzi omusaayi n’okuleeta buli kubonaabona kwonna ku nsi buli lwe banaabanga baagadde.
7 Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte n’okubawangula ebawangule. (Abyssos )
8 Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z’ekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba; ekibuga ekiyitibwa “Sodomu” mu mwoyo oba ensi eya “Misiri” mu mwoyo
9 Era okumala ennaku ssatu n’ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu abamu n’ebika, n’ennimi, n’amawanga mu nguudo z’ekibuga. Tewali n’omu alikkirizibwa kubaziika.
10 Era walibaawo okusanyuka ku nsi, abantu bonna nga bajaguza n’okuweerezagana ebirabo, n’okwekulisa bannabbi abo ababiri abaliba bafudde abaali bababonyaabonya ennyo.
11 Naye oluvannyuma lw’ennaku essatu n’ekitundu omwoyo gw’obulamu oguva eri Katonda ne gubayingiramu ne bayimirira. Awo okutya kungi ne kujjira buli muntu yenna eyabalaba.
12 Awo ne bawulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mulinnye mujje wano.” Ne balinnya mu kire okugenda mu ggulu ng’abalabe baabwe babalaba.
13 Mu ssaawa eyo y’emu ne wabaawo musisi eyasuula ekitundu ekimu eky’ekkumi eky’ekibuga, era abantu kasanvu ne bafa. Abaawona baatya nnyo era ne bagulumiza Katonda ow’eggulu.
14 Eky’entiisa ekyokubiri ne kiyita, naye ekyokusatu kijja mangu.
15 Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe n’emirembe.” (aiōn )
16 Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza
17 nga bagamba nti, “Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna, ggwe aliwo kati era eyaliwo, kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo, Era ofuga.
18 Amawanga gaakunyiigira, naye kaakano naawe ky’ekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo era ky’ekiseera okusalira abo abaafa omusango, n’okuwa empeera abaweereza bo bannabbi, n’abatukuvu bo, n’abo abatya erinnya lyo abakulu n’abato, n’okuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”
19 Awo Yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’eggulwawo, n’essanduuko ey’endagaano n’erabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu n’omuzira omungi ogw’amaanyi era ensi yonna n’ekankanyizibwa musisi ow’amaanyi ennyo.