< Zabbuli 98 >
1 Zabbuli. Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze eby’ekitalo. Omukono gwe ogwa ddyo, era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
2 Mukama ayolesezza obulokozi bwe, era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
3 Ajjukidde okwagala kwe okutakoma n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri. Enkomerero z’ensi yonna zirabye obulokozi bwa Katonda waffe.
4 Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna; muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
5 Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba; n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
6 n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe. Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.
7 Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu, n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
8 Emigga gikube mu ngalo n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
9 byonna biyimbe mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okulamula ensi. Aliramula ensi mu butuukirivu; aliramula amawanga mu bwenkanya.