< Zabbuli 97 >
1 Mukama afuga; ensi esanyuke, n’embalama eziri ewala zijaguze.
2 Ebire n’ekizikiza bimwetooloola; obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
3 Omuliro gumukulembera ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
4 Okumyansa kwe kumulisa ensi; ensi n’ekulaba n’ekankana.
5 Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama, mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6 Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe; n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.
7 Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde, abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole. Mumusinze mwe mwenna bakatonda.
8 Sayuuni akiwulira n’asanyuka, n’ebyalo bya Yuda bijaguza; kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
9 Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi; ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi, akuuma obulamu bw’abamwesiga, n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 Omusana gwe gwakira abatuukirivu, n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu, era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.