< Zabbuli 96 >
1 Muyimbire Mukama oluyimba oluggya; muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
2 Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye, mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
3 Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna, eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.
4 Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa; asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
5 Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi; naye Mukama ye yakola eggulu.
6 Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola; amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
7 Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna; mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
8 Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
9 Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe. Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10 Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
11 Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze; ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12 Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze; n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13 Kubanga Mukama ajja; ajja okusalira ensi omusango. Mukama aliramula ensi mu butuukirivu, n’abantu bonna abalamule mu mazima.