< Zabbuli 95 >
1 Mujje tuyimbire Mukama; tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
2 Tujje mu maaso ge n’okwebaza; tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
3 Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu; era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4 Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe; n’entikko z’ensozi nazo zize.
5 Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola; n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
6 Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
7 Kubanga ye Katonda waffe, naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye, era tuli ndiga ze z’alabirira. Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8 “Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba, ne ku lunaku luli e Maasa mu ddungu;
9 bajjajjammwe gye bangezesa; newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana; ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, era tebamanyi makubo gange.’
11 Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’”