< Zabbuli 94 >
1 Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga, ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
2 Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi, osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
3 Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi? Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?
4 Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana; abakola ebibi bonna beepankapanka.
5 Babetenta abantu bo, Ayi Mukama, babonyaabonya ezzadde lyo.
6 Batta nnamwandu n’omutambuze; ne batemula ataliiko kitaawe.
7 Ne boogera nti, “Katonda talaba; Katonda wa Yakobo tafaayo.”
8 Mwerinde mmwe abantu abatategeera. Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
9 Oyo eyatonda okutu tawulira? Oyo eyakola eriiso talaba?
10 Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze? Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu; amanyi nga mukka bukka.
12 Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula, gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 omuwummuzaako mu kabi kaalimu, okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 Kubanga Mukama talireka bantu be; talyabulira zzadde lye.
15 Aliramula mu butuukirivu, n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.
16 Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi? Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 Singa Mukama teyali mubeezi wange, omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 Bwe naleekaana nti, “Nseerera!” Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi, okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.
20 Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu, obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu; atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi; ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe, n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe; Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.