< Zabbuli 92 >
1 Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti. Kirungi okwebazanga Mukama, n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
A Psalm. A song for the Sabbath day. It is good to praise the LORD, and to sing praises to Your name, O Most High,
2 okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya, n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
to proclaim Your loving devotion in the morning and Your faithfulness at night
3 Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga n’endere awamu n’entongooli.
with the ten-stringed harp and the melody of the lyre.
4 Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza; kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
For You, O LORD, have made me glad by Your deeds; I sing for joy at the works of Your hands.
5 Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama; ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
How great are Your works, O LORD, how deep are Your thoughts!
6 Omuntu atalina magezi tamanyi; n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
A senseless man does not know, and a fool does not understand,
7 newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo, n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi, boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!
that though the wicked sprout like grass, and all evildoers flourish, they will be forever destroyed.
8 Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.
But You, O LORD, are exalted forever!
9 Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama, abalabe bo balizikirira, abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
For surely Your enemies, O LORD, surely Your enemies will perish; all evildoers will be scattered.
10 Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo, n’onfukako amafuta amalungi.
But You have exalted my horn like that of a wild ox; with fine oil I have been anointed.
11 Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange; n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.
My eyes see the downfall of my enemies; my ears hear the wailing of my wicked foes.
12 Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu, ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
The righteous will flourish like a palm tree, and grow like a cedar in Lebanon.
13 Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama. Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
Planted in the house of the LORD, they will flourish in the courts of our God.
14 Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala; baliba balamu era abagimu,
In old age they will still bear fruit; healthy and green they will remain,
15 kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima, lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
to proclaim, “The LORD is upright; He is my Rock, and in Him there is no unrighteousness.”