< Zabbuli 91 >
1 Obwesige bw’oyo atya Katonda. Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo; aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
2 Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange; ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
3 Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi, ne kawumpuli azikiriza.
4 Alikubikka n’ebyoya bye, era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga; obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
5 Tootyenga ntiisa ya kiro, wadde akasaale akalasibwa emisana;
6 newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza, wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.
7 Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo, n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo, naye olumbe terulikutuukako.
8 Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go; n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi.
9 Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo; Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
10 tewali kabi kalikutuukako, so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
11 Kubanga Mukama aliragira bamalayika be bakukuume mu makubo go gonna.
12 Balikuwanirira mu mikono gyabwe; oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera; olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.
14 “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya; nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 Anankowoolanga ne muyitabanga; nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi. Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
16 Ndimuwangaaza n’asanyuka era ndimulaga obulokozi bwange.”