< Zabbuli 90 >
1 Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda. Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu emirembe gyonna.
2 Ensozi nga tezinnabaawo, n’ensi yonna nga tonnagitonda; okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 Omuntu omuzzaayo mu nfuufu, n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
4 Kubanga emyaka olukumi, gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita, oba ng’ekisisimuka mu kiro.
5 Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa. Ku makya baba ng’omuddo omuto.
6 Ku makya guba munyirivu, naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.
7 Ddala ddala obusungu bwo butumalawo, n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
8 Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go, n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
9 Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde; tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10 Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu, oba kinaana bwe tubaamu amaanyi. Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana, era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11 Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo? Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12 Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe, tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
13 Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi? Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya, tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya, era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo, n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe; weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.