< Zabbuli 9 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi. Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna; nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
2 Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe. Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.
3 Abalabe bange bazzeeyo emabega, beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
4 Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange; era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
5 Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi; erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
6 Abalabe obamaliddewo ddala, n’ebibuga byabwe obizikirizza, era tewali aliddayo kubijjukira.
7 Naye Mukama afuga emirembe gyonna; era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
8 Aliramula ensi mu butuukirivu, era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
9 Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa; era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga; kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
11 Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni; mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 Ajjukira n’awoolera eggwanga era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.
13 Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya, onzigye ku miryango gy’okufa.
14 Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu mu miryango gy’omuwala wa Sayuuni: era njagulizenga mu bulokozi bwo.
15 Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima; era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga. Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 Ababi balisuulibwa emagombe; ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda. (Sheol )
18 Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna, era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.
19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula; leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama; amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.