< Zabbuli 89 >

1 Endagaano ya Katonda ne Dawudi. Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna. Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
משכיל לאיתן האזרחי ב חסדי יהוה עולם אשירה לדר ודר אודיע אמונתך בפי
2 Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna; n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
כי-אמרתי--עולם חסד יבנה שמים תכן אמונתך בהם
3 Nakola endagaano n’omulonde wange; nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
כרתי ברית לבחירי נשבעתי לדוד עבדי
4 “Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna, era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”
עד-עולם אכין זרעך ובניתי לדר-ודור כסאך סלה
5 Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo, Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
ויודו שמים פלאך יהוה אף-אמונתך בקהל קדשים
6 Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama? Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
כי מי בשחק יערך ליהוה ידמה ליהוה בבני אלים
7 Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu; era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
אל נערץ בסוד-קדשים רבה ונורא על-כל-סביביו
8 Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana? Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
יהוה אלהי צבאות--מי-כמוך חסין יה ואמונתך סביבותיך
9 Ggwe ofuga amalala g’ennyanja; amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
אתה מושל בגאות הים בשוא גליו אתה תשבחם
10 Lakabu wamubetentera ddala; abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
אתה דכאת כחלל רהב בזרוע עזך פזרת אויביך
11 Eggulu liryo, n’ensi yiyo; ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
לך שמים אף-לך ארץ תבל ומלאה אתה יסדתם
12 Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo; ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
צפון וימין אתה בראתם תבור וחרמון בשמך ירננו
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi, omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.
לך זרוע עם-גבורה תעז ידך תרום ימינך
14 Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo. Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
צדק ומשפט מכון כסאך חסד ואמת יקדמו פניך
15 Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu; Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
אשרי העם ידעי תרועה יהוה באור-פניך יהלכון
16 Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde, n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
בשמך יגילון כל-היום ובצדקתך ירומו
17 Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa. Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
כי-תפארת עזמו אתה וברצונך תרים (תרום) קרנינו
18 Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe, Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.
כי ליהוה מגננו ולקדוש ישראל מלכנו
19 Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi; ngulumizizza omuvubuka okuva mu bantu abaabulijjo.
אז דברת בחזון לחסידיך-- ותאמר שויתי עזר על-גבור הרימותי בחור מעם
20 Nalaba Dawudi, omuweereza wange; ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
מצאתי דוד עבדי בשמן קדשי משחתיו
21 Nnaamukulemberanga, n’omukono gwange gunaamunywezanga.
אשר ידי תכון עמו אף-זרועי תאמצנו
22 Tewaliba mulabe we alimuwangula, so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
לא-ישיא אויב בו ובן-עולה לא יעננו
23 Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula, n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
וכתותי מפניו צריו ומשנאיו אגוף
24 Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye, ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
ואמונתי וחסדי עמו ובשמי תרום קרנו
25 Alifuga okuva ku migga okutuuka ku nnyanja ennene.
ושמתי בים ידו ובנהרות ימינו
26 Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange, ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
הוא יקראני אבי אתה אלי וצור ישועתי
27 Ndimufuula omwana wange omubereberye, era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.
אף-אני בכור אתנהו עליון למלכי-ארץ
28 Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna; n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.
לעולם אשמור- (אשמר-) לו חסדי ובריתי נאמנת לו
29 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna, n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.
ושמתי לעד זרעו וכסאו כימי שמים
30 Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange, ne batagoberera biragiro byange;
אם-יעזבו בניו תורתי ובמשפטי לא ילכון
31 bwe banaamenyanga ebiragiro byange, ne batagondera mateeka gange,
אם-חקתי יחללו ומצותי לא ישמרו
32 ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe, ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.
ופקדתי בשבט פשעם ובנגעים עונם
33 Naye ssirirekayo kumwagala, wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.
וחסדי לא-אפיר מעמו ולא-אשקר באמונתי
34 Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange, wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
לא-אחלל בריתי ומוצא שפתי לא אשנה
35 Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli, nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”
אחת נשבעתי בקדשי אם-לדוד אכזב
36 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna; n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.
זרעו לעולם יהיה וכסאו כשמש נגדי
37 Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe, ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.
כירח יכון עולם ועד בשחק נאמן סלה
38 Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde, omukyaye era omunyiigidde.
ואתה זנחת ותמאס התעברת עם-משיחך
39 Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo, n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.
נארתה ברית עבדך חללת לארץ נזרו
40 Wamenyaamenya bbugwe we yenna, n’oggyawo n’ebigo bye.
פרצת כל-גדרתיו שמת מבצריו מחתה
41 Abatambuze baanyaga ebintu bye; n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.
שסהו כל-עברי דרך היה חרפה לשכניו
42 Wayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo, n’osanyusa abalabe be bonna.
הרימות ימין צריו השמחת כל-אויביו
43 Wakyusa ekitala kye n’otomuyamba mu lutalo.
אף-תשיב צור חרבו ולא הקימתו במלחמה
44 Ekitiibwa kye wakikomya; entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi.
השבת מטהרו וכסאו לארץ מגרתה
45 Ennaku z’obuvuka bwe wazisalako, n’omuswaza.
הקצרת ימי עלומיו העטית עליו בושה סלה
46 Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna? Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?
עד-מה יהוה תסתר לנצח תבער כמו-אש חמתך
47 Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi. Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!
זכר-אני מה-חלד על-מה-שוא בראת כל-בני-אדם
48 Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa n’awangula amaanyi g’emagombe? (Sheol h7585)
מי גבר יחיה ולא יראה-מות ימלט נפשו מיד-שאול סלה (Sheol h7585)
49 Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo, kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?
איה חסדיך הראשנים אדני נשבעת לדוד באמונתך
50 Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa, engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;
זכר אדני חרפת עבדיך שאתי בחיקי כל-רבים עמים
51 abalabe bo banvuma, Ayi Mukama; ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.
אשר חרפו אויביך יהוה אשר חרפו עקבות משיחך
52 Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!
ברוך יהוה לעולם אמן ואמן

< Zabbuli 89 >