< Zabbuli 88 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange, nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.
שיר מזמור לבני-קרח למנצח על-מחלת לענות משכיל להימן האזרחי ב יהוה אלהי ישועתי-- יום-צעקתי בלילה נגדך
2 Kkiriza okusaba kwange kutuuke gy’oli; otege okutu kwo nga nkukoowoola.
תבוא לפניך תפלתי הטה אזנך לרנתי
3 Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu, era nsemberedde okufa. (Sheol h7585)
כי-שבעה ברעות נפשי וחיי לשאול הגיעו (Sheol h7585)
4 Mbalirwa mu abo abaserengeta emagombe; nfaanana ng’omuntu atalina maanyi.
נחשבתי עם-יורדי בור הייתי כגבר אין-איל
5 Bandese wano ng’afudde, nga ndi ng’abo be basse abalinda obulinzi entaana, nga tokyaddayo kubajjukira, era nga tewakyali kya kubakolera.
במתים חפשי כמו חללים שכבי קבר-- אשר לא זכרתם עוד והמה מידך נגזרו
6 Ontadde mu kinnya ekisinga obuwanvu, era eky’ekizikiza ekikutte ennyo.
שתני בבור תחתיות במחשכים במצלות
7 Obusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo, ng’ennyanja esiikuuse n’amayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.
עלי סמכה חמתך וכל-משבריך ענית סלה
8 Ab’emikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko, n’onfuula ekyenyinyalwa gye bali. Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.
הרחקת מידעי ממני שתני תועבות למו כלא ולא אצא
9 Amaaso gange gayimbadde olw’ennaku. Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama, ne ngolola emikono gyange gy’oli nga nkwegayirira.
עיני דאבה מני-עני קראתיך יהוה בכל-יום שטחתי אליך כפי
10 Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu? Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?
הלמתים תעשה-פלא אם-רפאים יקומו יודוך סלה
11 Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?
היספר בקבר חסדך אמונתך באבדון
12 Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo eky’ekizikiza? Oba ebikolwa byo eby’obutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?
היודע בחשך פלאך וצדקתך בארץ נשיה
13 Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba; buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gy’oli.
ואני אליך יהוה שועתי ובבקר תפלתי תקדמך
14 Ayi Mukama, onsuulidde ki? Onkwekedde ki amaaso go?
למה יהוה תזנח נפשי תסתיר פניך ממני
15 Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa; ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
עני אני וגוע מנער נשאתי אמיך אפונה
16 Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza. Entiisa yo tendeseemu ka buntu.
עלי עברו חרוניך בעותיך צמתותני
17 Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna; binsaanikiridde ddala.
סבוני כמים כל-היום הקיפו עלי יחד
18 Ommazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo; nsigazza nzikiza yokka.
הרחקת ממני אהב ורע מידעי מחשך

< Zabbuli 88 >