< Zabbuli 87 >

1 Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba. Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
לבני קרח מזמור שיר יסודתו בהררי קדש׃
2 Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
אהב יהוה שערי ציון מכל משכנות יעקב׃
3 Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako, ggwe ekibuga kya Katonda.
נכבדות מדבר בך עיר האלהים סלה׃
4 “Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu, ne Babulooni; era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’”
אזכיר רהב ובבל לידעי הנה פלשת וצור עם כוש זה ילד שם׃
5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti, “Ono n’oli baazaalirwa omwo,” n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
ולציון יאמר איש ואיש ילד בה והוא יכוננה עליון׃
6 Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati, omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”
יהוה יספר בכתוב עמים זה ילד שם סלה׃
7 Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti, “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”
ושרים כחללים כל מעיני בך׃

< Zabbuli 87 >