< Zabbuli 86 >
1 Okusaba kwa Dawudi. Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule, kubanga ndi mwavu atalina kintu.
2 Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa. Katonda wange, ondokole nze omuddu wo akwesiga.
3 Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
4 Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama; kubanga omwoyo gwange nguyimusa eyo gy’oli.
5 Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama; n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
6 Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama; owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
7 Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga; kubanga ononnyanukulanga.
8 Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama; era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
9 Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda ganajjanga mu maaso go ne gakusinza; era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
10 Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa; ggwe wekka ggwe Katonda.
11 Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama, ntambulirenga mu mazima go; ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana, ntyenga erinnya lyo.
12 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna; erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.
13 Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi; wawonya omwoyo gwange amagombe. (Sheol )
14 Ayi Katonda, ab’amalala bannumba, ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita, be bantu abatakufiirako ddala.
15 Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa, olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
16 Onkyukire, onsaasire, ompe amaanyi go nze omuweereza wo; nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
17 Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo, abalabe bange bakalabe baswale; kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.