< Zabbuli 85 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama; Yakobo omuddizza ebibye.
לַמְנַצֵּ֬חַ ׀ לִבְנֵי־קֹ֬רַח מִזְמֽוֹר׃ רָצִ֣יתָ יְהוָ֣ה אַרְצֶ֑ךָ שַׁ֝֗בְתָּ שבות יַעֲקֹֽב׃
2 Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe, n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
נָ֭שָׂאתָ עֲוֺ֣ן עַמֶּ֑ךָ כִּסִּ֖יתָ כָל־חַטָּאתָ֣ם סֶֽלָה׃
3 Ekiruyi kyo kyonna okirese, n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.
אָסַ֥פְתָּ כָל־עֶבְרָתֶ֑ךָ הֱ֝שִׁיב֗וֹתָ מֵחֲר֥וֹן אַפֶּֽךָ׃
4 Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe, oleke okutusunguwalira.
שׁ֭וּבֵנוּ אֱלֹהֵ֣י יִשְׁעֵ֑נוּ וְהָפֵ֖ר כַּֽעַסְךָ֣ עִמָּֽנוּ׃
5 Onootusunguwaliranga emirembe gyonna? Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
הַלְעוֹלָ֥ם תֶּֽאֱנַף־בָּ֑נוּ תִּמְשֹׁ֥ךְ אַ֝פְּךָ֗ לְדֹ֣ר וָדֹֽר׃
6 Tolituzaamu ndasi, abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
הֲֽלֹא־אַ֭תָּה תָּשׁ֣וּב תְּחַיֵּ֑נוּ וְ֝עַמְּךָ֗ יִשְׂמְחוּ־בָֽךְ׃
7 Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda, era otuwe obulokozi bwo.
הַרְאֵ֣נוּ יְהוָ֣ה חַסְדֶּ֑ךָ וְ֝יֶשְׁעֲךָ֗ תִּתֶּן־לָֽנוּ׃
8 Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba; asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe; naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
אֶשְׁמְעָ֗ה מַה־יְדַבֵּר֮ הָאֵ֪ל ׀ יְה֫וָ֥ה כִּ֤י ׀ יְדַבֵּ֬ר שָׁל֗וֹם אֶל־עַמּ֥וֹ וְאֶל־חֲסִידָ֑יו וְֽאַל־יָשׁ֥וּבוּ לְכִסְלָֽה׃
9 Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya, ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
אַ֤ךְ ׀ קָר֣וֹב לִירֵאָ֣יו יִשְׁע֑וֹ לִשְׁכֹּ֖ן כָּב֣וֹד בְּאַרְצֵֽנוּ׃
10 Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye; obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
חֶֽסֶד־וֶאֱמֶ֥ת נִפְגָּ֑שׁוּ צֶ֖דֶק וְשָׁל֣וֹם נָשָֽׁקוּ׃
11 Obwesigwa bulose mu nsi, n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
אֱ֭מֶת מֵאֶ֣רֶץ תִּצְמָ֑ח וְ֝צֶ֗דֶק מִשָּׁמַ֥יִם נִשְׁקָֽף׃
12 Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi, n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
גַּם־יְ֭הוָה יִתֵּ֣ן הַטּ֑וֹב וְ֝אַרְצֵ֗נוּ תִּתֵּ֥ן יְבוּלָֽהּ׃
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga, era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
צֶ֭דֶק לְפָנָ֣יו יְהַלֵּ֑ךְ וְיָשֵׂ֖ם לְדֶ֣רֶךְ פְּעָמָֽיו׃

< Zabbuli 85 >