< Zabbuli 84 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Eweema zo nga nnungi, Ayi Mukama ow’Eggye!
2 Omwoyo gwange guyaayaana, gwagala na kuzirika, olw’empya za Mukama, omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
3 Weewaawo, ne nkazaluggya yeekoledde ekisu, n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo awo okumpi n’Ebyoto byo, Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4 Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo, banaakutenderezanga.
5 Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go, era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
6 Bayita mu kiwonvu Baka, ne bakifuula ekifo ky’ensulo; n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
7 Bagenda beeyongera amaanyi, okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8 Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye; mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
9 Ayi Katonda, Engabo yaffe, tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
10 Okumala olunaku olumu mu mpya zo, kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange, okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
12 Ayi Mukama ow’Eggye alina omukisa omuntu akwesiga.