< Zabbuli 82 >
1 Zabbuli ya Asafu. Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu, ng’alamula bakatonda.
Psalmus Asaph. Deus stetit in synagoga deorum: in medio autem deos diiudicat.
2 Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa, nga musalira abanafu?
Usquequo iudicatis iniquitatem: et facies peccatorum sumitis?
3 Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
Iudicate egeno, et pupillo: humilem, et pauperem iustificate.
4 Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye; mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.
Eripite pauperem: et egenum de manu peccatoris liberate.
5 Tebalina kye bamanyi, era tebategeera. Batambulira mu kizikiza; emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.
Nescierunt, neque intellexerunt, in tenebris ambulant: movebuntur omnia fundamenta terræ.
6 Njogedde nti, Muli bakatonda, era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
Ego dixi: dii estis, et filii excelsi omnes.
7 “Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu; muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”
Vos autem sicut homines moriemini: et sicut unus de principibus cadetis.
8 Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi; kubanga amawanga gonna gago.
Surge Deus, iudica terram: quoniam tu hereditabis in omnibus gentibus.