< Zabbuli 81 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu. Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe; muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
2 Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka, era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
4 Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri, lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
5 Yaliteekera Yusufu, Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri; gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.
6 “Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye; n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
7 Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya, nabaanukulira mu kubwatuka mu kire; ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
8 Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula. Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
9 Temubeeranga na katonda mulala, wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y’e Misiri. Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.
11 “Naye abantu bange tebampuliriza; Isirayiri teyaŋŋondera.
12 Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe, okugoberera ebyo bye baagala.
13 “Singa abantu bange bampuliriza; singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe, ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali; ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi, ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”