< Zabbuli 80 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu. Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri; ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo; ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
למנצח אל ששנים עדות לאסף מזמור רעה ישראל האזינה נהג כצאן יוסף ישב הכרובים הופיעה׃
2 Amaanyi go galabike mu Efulayimu, ne mu Benyamini ne mu Manase, ojje otulokole.
לפני אפרים ובנימן ומנשה עוררה את גבורתך ולכה לישעתה לנו׃
3 Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda, otutunuulize amaaso ag’ekisa, otulokole.
אלהים השיבנו והאר פניך ונושעה׃
4 Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye, olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
יהוה אלהים צבאות עד מתי עשנת בתפלת עמך׃
5 Wabaliisa emmere ejjudde amaziga; n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
האכלתם לחם דמעה ותשקמו בדמעות שליש׃
6 Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe, n’abalabe baffe ne batuduulira.
תשימנו מדון לשכנינו ואיבינו ילעגו למו׃
7 Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye, otutunuulize amaaso go ag’ekisa, tulokolebwe.
אלהים צבאות השיבנו והאר פניך ונושעה׃
8 Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri; n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
גפן ממצרים תסיע תגרש גוים ותטעה׃
9 Wagulongooseza ettaka, ne gumera, emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
פנית לפניה ותשרש שרשיה ותמלא ארץ׃
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi, n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
כסו הרים צלה וענפיה ארזי אל׃
11 Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.
תשלח קצירה עד ים ואל נהר יונקותיה׃
12 Kale wamenyera ki ebisenge byagwo, abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
למה פרצת גדריה וארוה כל עברי דרך׃
13 Embizzi ez’omu kibira zigwonoona, na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
יכרסמנה חזיר מיער וזיז שדי ירענה׃
14 Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye, otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu; olabirire omuzabbibu guno.
אלהים צבאות שוב נא הבט משמים וראה ופקד גפן זאת׃
15 Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo, era ggwe weerondera omwana wo.
וכנה אשר נטעה ימינך ועל בן אמצתה לך׃
16 Bagutemye, ne bagwokya omuliro; abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
שרפה באש כסוחה מגערת פניך יאבדו׃
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala era omwana oyo gwe weerondera.
תהי ידך על איש ימינך על בן אדם אמצת לך׃
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega. Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.
ולא נסוג ממך תחינו ובשמך נקרא׃
19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, otutunuulize amaaso go ag’ekisa, tulyoke tulokolebwe.
יהוה אלהים צבאות השיבנו האר פניך ונושעה׃

< Zabbuli 80 >