< Zabbuli 8 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu.
לַמְנַצֵּ֥חַ עַֽל־הַגִּתִּ֗ית מִזְמֹ֥ור לְדָוִֽד׃ יְהוָ֤ה אֲדֹנֵ֗ינוּ מָֽה־אַדִּ֣יר שִׁ֭מְךָ בְּכָל־הָאָ֑רֶץ אֲשֶׁ֥ר תְּנָ֥ה הֹ֝ודְךָ֗ עַל־הַשָּׁמָֽיִם׃
2 Abaana abato n’abawere wabawa amaanyi okukutendereza; ne basirisa omulabe wo n’oyo ayagala okwesasuza.
מִפִּ֤י עֹֽולְלִ֨ים ׀ וְֽיֹנְקִים֮ יִסַּ֪דְתָּ֫ עֹ֥ז לְמַ֥עַן צֹורְרֶ֑יךָ לְהַשְׁבִּ֥ית אֹ֝ויֵ֗ב וּמִתְנַקֵּֽם׃
3 Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye bye watonda;
כִּֽי־אֶרְאֶ֣ה שָׁ֭מֶיךָ מַעֲשֵׂ֣י אֶצְבְּעֹתֶ֑יךָ יָרֵ֥חַ וְ֝כֹוכָבִ֗ים אֲשֶׁ֣ר כֹּונָֽנְתָּה׃
4 omuntu kye ki ggwe okumujjukira, omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
מָֽה־אֱנֹ֥ושׁ כִּֽי־תִזְכְּרֶ֑נּוּ וּבֶן־אָ֝דָ֗ם כִּ֣י תִפְקְדֶֽנּוּ׃
5 Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda; n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
וַתְּחַסְּרֵ֣הוּ מְּ֭עַט מֵאֱלֹהִ֑ים וְכָבֹ֖וד וְהָדָ֣ר תְּעַטְּרֵֽהוּ׃
6 Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo: byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
תַּ֭מְשִׁילֵהוּ בְּמַעֲשֵׂ֣י יָדֶ֑יךָ כֹּ֝ל שַׁ֣תָּה תַֽחַת־רַגְלָֽיו׃
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
צֹנֶ֣ה וַאֲלָפִ֣ים כֻּלָּ֑ם וְ֝גַ֗ם בַּהֲמֹ֥ות שָׂדָֽי׃
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ebyennyanja eby’omu nnyanja; era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
צִפֹּ֣ור שָׁ֭מַיִם וּדְגֵ֣י הַיָּ֑ם עֹ֝בֵ֗ר אָרְחֹ֥ות יַמִּֽים׃
9 Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
יְהוָ֥ה אֲדֹנֵ֑ינוּ מָֽה־אַדִּ֥יר שִׁ֝מְךָ֗ בְּכָל־הָאָֽרֶץ׃

< Zabbuli 8 >