< Zabbuli 79 >
1 Zabbuli ya Asafu. Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga; boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa, ne kifuuka entuumo.
2 Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga, n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
3 Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi okwetooloola Yerusaalemi, so nga abafudde tewali muntu abaziika.
4 Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso, era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
5 Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
6 Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga agatakumanyi, ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.
7 Kubanga bazikirizza Yakobo, ne basaanyaawo ensi ye.
8 Totubalira kibi kya bajjajjaffe; tukusaba oyanguwe okutusaasira kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
9 Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe olw’erinnya lyo.
10 Lwaki abamawanga babuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?” Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa, kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11 Wuliriza okusinda kw’omusibe; okozese omukono gwo ogw’amaanyi owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
12 Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira, bawalane emirundi musanvu.
13 Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo, tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna; buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.