< Zabbuli 78 >
1 Oluyimba lwa Asafu. Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange, musseeyo omwoyo ku bye njogera.
2 Ndyogerera mu ngero, njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
3 ebintu bye twawulira ne tumanya; ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
4 Tetuubikisenga baana baabwe, naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo, n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
5 Yawa Yakobo ebiragiro, n’ateeka amateeka mu Isirayiri; n’alagira bajjajjaffe babiyigirizenga abaana baabwe,
6 ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye, n’abaana abalizaalibwa, nabo babiyigirize abaana baabwe,
7 balyoke beesigenga Katonda, era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola; naye bagonderenga ebiragiro bye.
8 Baleme okuba nga bajjajjaabwe, omulembe ogw’abakakanyavu era abajeemu abatali bawulize, ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.
9 Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa, naye ne badduka mu lutalo,
10 tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda; ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11 Beerabira ebyo bye yakola, n’ebyamagero bye yabalaga.
12 Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13 Ennyanja yajaawulamu, amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14 Emisana yabakulemberanga n’ekire, n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15 Yayasa enjazi mu ddungu, n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16 Yaggya ensulo mu lwazi, n’akulukusa amazzi ng’emigga.
17 Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona, ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18 Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu, nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19 Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti, “Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20 Weewaawo yakuba olwazi, amazzi ne gakulukuta ng’emigga; naye anaatuwa emmere? Anaawa abantu be ennyama?”
21 Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo; omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo, n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22 Kubanga tebakkiriza Katonda, era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23 Naye era n’alagira eggulu; n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24 N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye. Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25 Abantu ne balya emmere ya bamalayika; Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26 N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu, era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27 Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu; n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28 Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe; okwetooloola eweema zaabwe.
29 Awo ne balya ne bakkuta nnyo; kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30 Naye bwe baali nga bakyalulunkana, nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31 obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n’abattamu abasajja abasinga amaanyi; abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.
32 Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona; newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33 Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe, n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34 Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya, ne beenenya ne badda gy’ali.
35 Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe; era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36 Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe, nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37 so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe, era nga tebatuukiriza ndagaano ye.
38 Naye ye n’abakwatirwanga ekisa n’abasonyiwanga, n’atabazikiriza; emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe, n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 Yajjukira nga baali mubiri bubiri; ng’empewo egenda n’etedda!
40 Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu; ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 Ne baddamu ne bakema Katonda, ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42 Tebajjukira buyinza bwe; wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri, n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi, ne batanywa mazzi gaagyo.
45 Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma, n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige ne bulusejjera.
47 Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira, era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira; n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako, n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa. N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50 Yabalaga obusungu bwe, n’atabasonyiwa kufa, n’abasindikira kawumpuli.
51 Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri, nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga, n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya, ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu; ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 Yagobamu amawanga nga balaba, n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo; n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56 Naye era ne bakema Katonda; ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo, ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali, ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu, ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 N’ava mu weema ey’omu Siiro, eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 N’awaayo amaanyi ge mu busibe, n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala, n’asunguwalira omugabo gwe.
63 Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi, ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.
65 Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo, ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 N’akuba abalabe be ne badduka; n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu, n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 naye n’alonda ekika kya Yuda, lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu; ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 Yalonda Dawudi omuweereza we; n’amuggya mu kulunda endiga.
71 Ave mu kuliisa endiga, naye alundenga Yakobo, be bantu be, era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa, n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.