< Zabbuli 77 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu. Nnaakaabirira Katonda ambeere, ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
למנצח על ידיתון לאסף מזמור קולי אל אלהים ואצעקה קולי אל אלהים והאזין אלי׃
2 Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama, ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa; emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
ביום צרתי אדני דרשתי ידי לילה נגרה ולא תפוג מאנה הנחם נפשי׃
3 Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda, ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
אזכרה אלהים ואהמיה אשיחה ותתעטף רוחי סלה׃
4 Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
אחזת שמרות עיני נפעמתי ולא אדבר׃
5 Ne ndowooza ku biseera eby’edda, ne nzijukira emyaka egyayita.
חשבתי ימים מקדם שנות עולמים׃
6 Najjukiranga ennyimba zange ekiro, ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:
אזכרה נגינתי בלילה עם לבבי אשיחה ויחפש רוחי׃
7 “Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna naataddayo kutulaga kisa kye?
הלעולמים יזנח אדני ולא יסיף לרצות עוד׃
8 Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala? Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
האפס לנצח חסדו גמר אמר לדר ודר׃
9 Katonda yeerabidde ekisa kye? Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”
השכח חנות אל אם קפץ באף רחמיו סלה׃
10 Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
ואמר חלותי היא שנות ימין עליון׃
11 Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama, weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
אזכיר מעללי יה כי אזכרה מקדם פלאך׃
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi; nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
והגיתי בכל פעלך ובעלילותיך אשיחה׃
13 Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu. Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
אלהים בקדש דרכך מי אל גדול כאלהים׃
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero; era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
אתה האל עשה פלא הודעת בעמים עזך׃
15 Wanunula abantu bo n’omukono gwo, abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
גאלת בזרוע עמך בני יעקב ויוסף סלה׃
16 Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda; amazzi bwe gaakulaba ne gatya, n’obuziba ne bukankanira ddala.
ראוך מים אלהים ראוך מים יחילו אף ירגזו תהמות׃
17 Ebire byayiwa amazzi ne bivaamu n’okubwatuka, era n’obusaale bwo ne bubuna.
זרמו מים עבות קול נתנו שחקים אף חצציך יתהלכו׃
18 Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta okumyansa kwo ne kumulisa ensi. Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
קול רעמך בגלגל האירו ברקים תבל רגזה ותרעש הארץ׃
19 Ekkubo lyo lyali mu nnyanja; wayita mu mazzi amangi, naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
בים דרכך ושביליך במים רבים ועקבותיך לא נדעו׃
20 Wakulembera abantu bo ng’ekisibo, nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.
נחית כצאן עמך ביד משה ואהרן׃

< Zabbuli 77 >