< Zabbuli 75 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba. Tukwebaza, Ayi Katonda. Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi. Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.
2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera era nsala omusango gwa bwenkanya.
3 Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira, naye nze nywezezza empagi zaayo.”
4 Nalabula ab’amalala bagaleke, n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu n’okwogera nga muduula.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
7 wabula biva eri Katonda; era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
8 Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu; akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
9 Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama; nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi, naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.