< Zabbuli 74 >
1 Zabbuli ya Asafu. Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna? Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
2 Ojjukire abantu bo be wagula edda; ekika kye wanunula okuba ababo. Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
3 Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa! Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.
4 Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga; ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
5 Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi abatema emiti mu kibira.
6 Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole, era ne babissessebbula n’obubazzi.
7 Bookezza awatukuvu wo; ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
8 Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!” Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.
9 Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu. So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira? Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo? Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?
12 Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda; gw’oleeta obulokozi mu nsi.
13 Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja; omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene; n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 Ggwe wazibukula ensulo n’emyala; ate n’okaza n’emigga egyakulukutanga bulijjo.
16 Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo; ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 Ggwe wateekawo ensalo z’ensi; ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.
18 Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe, n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe; so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 Ojjukire endagaano yo; kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa; era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango. Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo, n’okuleekaana okwa buli kiseera.