< Zabbuli 73 >

1 Zabbuli ya Asafu. Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri n’eri abo abalina omutima omulongoofu.
מזמור לאסף אך טוב לישראל אלהים-- לברי לבב
2 Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala era n’ebigere byange okuseerera.
ואני--כמעט נטוי (נטיו) רגלי כאין שפכה (שפכו) אשרי
3 Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya; bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.
כי-קנאתי בהוללים שלום רשעים אראה
4 Kubanga tebalina kibaluma; emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
כי אין חרצבות למותם ובריא אולם
5 Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala. So tebalina kibabonyaabonya.
בעמל אנוש אינמו ועם-אדם לא ינגעו
6 Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago, n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
לכן ענקתמו גאוה יעטף-שית חמס למו
7 Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana; balina bingi okusinga bye beetaaga.
יצא מחלב עינמו עברו משכיות לבב
8 Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga. Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
ימיקו וידברו ברע עשק ממרום ידברו
9 Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu; n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
שתו בשמים פיהם ולשונם תהלך בארץ
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira ne banywa amazzi mangi.
לכן ישיב (ישוב) עמו הלם ומי מלא ימצו למו
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya? Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”
ואמרו איכה ידע-אל ויש דעה בעליון
12 Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo; bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.
הנה-אלה רשעים ושלוי עולם השגו-חיל
13 Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona, n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
אך-ריק זכיתי לבבי וארחץ בנקיון כפי
14 Naye mbonaabona obudde okuziba, era buli nkya mbonerezebwa.
ואהי נגוע כל-היום ותוכחתי לבקרים
15 Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti, nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
אם-אמרתי אספרה כמו הנה דור בניך בגדתי
16 Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo; nakisanga nga kizibu nnyo,
ואחשבה לדעת זאת עמל היא (הוא) בעיני
17 okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda, ne ntegeera enkomerero y’ababi.
עד-אבוא אל-מקדשי-אל אבינה לאחריתם
18 Ddala obatadde mu bifo ebiseerera; obasudde n’obafaafaaganya.
אך בחלקות תשית למו הפלתם למשואות
19 Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe! Entiisa n’ebamalirawo ddala!
איך היו לשמה כרגע ספו תמו מן-בלהות
20 Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi; era naawe bw’otyo, Ayi Mukama, bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.
כחלום מהקיץ-- אדני בעיר צלמם תבזה
21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala, n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
כי יתחמץ לבבי וכליותי אשתונן
22 n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi, ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.
ואני-בער ולא אדע בהמות הייתי עמך
23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo; gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
ואני תמיד עמך אחזת ביד-ימיני
24 Mu kuteesa kwo onkulembera, era olintuusa mu kitiibwa.
בעצתך תנחני ואחר כבוד תקחני
25 Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe? Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
מי-לי בשמים ועמך לא-חפצתי בארץ
26 Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa; naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange, era ye wange ennaku zonna.
כלה שארי ולבבי צור-לבבי וחלקי--אלהים לעולם
27 Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira; kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
כי-הנה רחקיך יאבדו הצמתה כל-זונה ממך
28 Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange. Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange; ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.
ואני קרבת אלהים-- לי-טוב שתי באדני יהוה מחסי לספר כל-מלאכותיך

< Zabbuli 73 >