< Zabbuli 72 >

1 Zabbuli ya Sulemaani. Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya, ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
לִשְׁלֹמֹ֨ה ׀ אֱֽלֹהִ֗ים מִ֭שְׁפָּטֶיךָ לְמֶ֣לֶךְ תֵּ֑ן וְצִדְקָתְךָ֥ לְבֶן־מֶֽלֶךְ׃
2 alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu, n’abaavu abalamulenga mu mazima.
יָדִ֣ין עַמְּךָ֣ בְצֶ֑דֶק וַעֲנִיֶּ֥יךָ בְמִשְׁפָּֽט׃
3 Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
יִשְׂא֤וּ הָרִ֓ים שָׁ֘ל֥וֹם לָעָ֑ם וּ֝גְבָע֗וֹת בִּצְדָקָֽה׃
4 Anaalwaniriranga abaavu, n’atereeza abaana b’abo abeetaaga, n’omujoozi n’amusaanyaawo.
יִשְׁפֹּ֤ט ׀ עֲֽנִיֵּי־עָ֗ם י֭וֹשִׁיעַ לִבְנֵ֣י אֶבְי֑וֹן וִֽידַכֵּ֣א עוֹשֵֽׁק׃
5 Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma okwaka mu mirembe gyonna.
יִֽירָא֥וּךָ עִם־שָׁ֑מֶשׁ וְלִפְנֵ֥י יָ֝רֵ֗חַ דּ֣וֹר דּוֹרִֽים׃
6 Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa, afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
יֵ֭רֵד כְּמָטָ֣ר עַל־גֵּ֑ז כִּ֝רְבִיבִ֗ים זַרְזִ֥יף אָֽרֶץ׃
7 Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe, n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!
יִֽפְרַח־בְּיָמָ֥יו צַדִּ֑יק וְרֹ֥ב שָׁ֝ל֗וֹם עַד־בְּלִ֥י יָרֵֽחַ׃
8 Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n’okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nkomerero z’ensi!
וְ֭יֵרְדְּ מִיָּ֣ם עַד־יָ֑ם וּ֝מִנָּהָ֗ר עַד־אַפְסֵי־אָֽרֶץ׃
9 Ebika eby’omu malungu bimugonderenga, n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
לְ֭פָנָיו יִכְרְע֣וּ צִיִּ֑ים וְ֝אֹיְבָ֗יו עָפָ֥ר יְלַחֵֽכוּ׃
10 Bakabaka b’e Talusiisi n’ab’oku bizinga eby’ewala bamuwenga omusolo; bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba bamutonerenga ebirabo.
מַלְכֵ֬י תַרְשִׁ֣ישׁ וְ֭אִיִּים מִנְחָ֣ה יָשִׁ֑יבוּ מַלְכֵ֥י שְׁבָ֥א וּ֝סְבָ֗א אֶשְׁכָּ֥ר יַקְרִֽיבוּ׃
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge; amawanga gonna ganaamuweerezanga.
וְיִשְׁתַּחֲווּ־ל֥וֹ כָל־מְלָכִ֑ים כָּל־גּוֹיִ֥ם יַֽעַבְדֽוּהוּ׃
12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga, n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
כִּֽי־יַ֭צִּיל אֶבְי֣וֹן מְשַׁוֵּ֑עַ וְ֝עָנִ֗י וְֽאֵין־עֹזֵ֥ר לֽוֹ׃
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu; n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
יָ֭חֹס עַל־דַּ֣ל וְאֶבְי֑וֹן וְנַפְשׁ֖וֹת אֶבְיוֹנִ֣ים יוֹשִֽׁיעַ׃
14 Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe; kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.
מִתּ֣וֹךְ וּ֭מֵחָמָס יִגְאַ֣ל נַפְשָׁ֑ם וְיֵיקַ֖ר דָּמָ֣ם בְּעֵינָֽיו׃
15 Awangaale! Aleeterwe zaabu okuva e Syeba. Abantu bamwegayiririrenga era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
וִיחִ֗י וְיִתֶּן־לוֹ֮ מִזְּהַ֪ב שְׁ֫בָ֥א וְיִתְפַּלֵּ֣ל בַּעֲד֣וֹ תָמִ֑יד כָּל־הַ֝יּ֗וֹם יְבָרֲכֶֽנְהֽוּ׃
16 Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi, ebikke n’entikko z’ensozi. Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni; n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
יְהִ֤י פִסַּת־בַּ֨ר ׀ בָּאָרֶץ֮ בְּרֹ֪אשׁ הָ֫רִ֥ים יִרְעַ֣שׁ כַּלְּבָנ֣וֹן פִּרְי֑וֹ וְיָצִ֥יצוּ מֵ֝עִ֗יר כְּעֵ֣שֶׂב הָאָֽרֶץ׃
17 Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna, n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba. Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye, era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.
יְהִ֤י שְׁמ֨וֹ לְֽעוֹלָ֗ם לִפְנֵי־שֶׁמֶשׁ֮ ינין שְׁ֫מ֥וֹ וְיִתְבָּ֥רְכוּ ב֑וֹ כָּל־גּוֹיִ֥ם יְאַשְּׁרֽוּהוּ׃
18 Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri, oyo yekka akola ebyewuunyisa.
בָּר֤וּךְ ׀ יְהוָ֣ה אֱ֭לֹהִים אֱלֹהֵ֣י יִשְׂרָאֵ֑ל עֹשֵׂ֖ה נִפְלָא֣וֹת לְבַדּֽוֹ׃
19 Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe! Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
וּבָר֤וּךְ ׀ שֵׁ֥ם כְּבוֹד֗וֹ לְע֫וֹלָ֥ם וְיִמָּלֵ֣א כְ֭בוֹדוֹ אֶת־כֹּ֥ל הָאָ֗רֶץ אָ֘מֵ֥ן ׀ וְאָמֵֽן׃
20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.
כָּלּ֥וּ תְפִלּ֑וֹת דָּ֝וִ֗ד בֶּן־יִשָֽׁי׃

< Zabbuli 72 >