< Zabbuli 71 >

1 Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka, tondeka kuswazibwa.
בך יהוה חסיתי אל אבושה לעולם׃
2 Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye; ontegere okutu ondokole.
בצדקתך תצילני ותפלטני הטה אלי אזנך והושיעני׃
3 Onfuukire olwazi obuddukiro bwange, ekifo eky’amaanyi; ondokole kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
היה לי לצור מעון לבוא תמיד צוית להושיעני כי סלעי ומצודתי אתה׃
4 Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi, omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
אלהי פלטני מיד רשע מכף מעול וחומץ׃
5 Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange; ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
כי אתה תקותי אדני יהוה מבטחי מנעורי׃
6 Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa; ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange. Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
עליך נסמכתי מבטן ממעי אמי אתה גוזי בך תהלתי תמיד׃
7 Eri abangi nafuuka; naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
כמופת הייתי לרבים ואתה מחסי עז׃
8 Akamwa kange kajjudde ettendo lyo, nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.
ימלא פי תהלתך כל היום תפארתך׃
9 Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde. Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
אל תשליכני לעת זקנה ככלות כחי אל תעזבני׃
10 Kubanga abalabe bange banjogerako; abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
כי אמרו אויבי לי ושמרי נפשי נועצו יחדו׃
11 Bagamba nti, “Katonda amulese, ka tumugobe tumukwate, kubanga taliiko anaamuwonya.”
לאמר אלהים עזבו רדפו ותפשוהו כי אין מציל׃
12 Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange, yanguwa ojje ombeere.
אלהים אל תרחק ממני אלהי לעזרתי חישה׃
13 Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi, abanoonya okunnumya baswale era banyoomebwe.
יבשו יכלו שטני נפשי יעטו חרפה וכלמה מבקשי רעתי׃
14 Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna. Era nneeyongeranga okukutenderezanga.
ואני תמיד איחל והוספתי על כל תהלתך׃
15 Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba; nnaayogeranga ku bulokozi bwo, wadde siyinza kubupima.
פי יספר צדקתך כל היום תשועתך כי לא ידעתי ספרות׃
16 Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda, era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
אבוא בגברות אדני יהוה אזכיר צדקתך לבדך׃
17 Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange; n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
אלהים למדתני מנעורי ועד הנה אגיד נפלאותיך׃
18 Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi, tonjabuliranga, Ayi Katonda, okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi, n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.
וגם עד זקנה ושיבה אלהים אל תעזבני עד אגיד זרועך לדור לכל יבוא גבורתך׃
19 N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu. Ggw’okoze ebikulu, Ayi Katonda, ani akwenkana?
וצדקתך אלהים עד מרום אשר עשית גדלות אלהים מי כמוך׃
20 Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo, ggw’olinzizaamu obulamu, n’ompa amaanyi amaggya, n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
אשר הראיתנו צרות רבות ורעות תשוב תחיינו ומתהמות הארץ תשוב תעלני׃
21 Olinnyongerako ekitiibwa n’oddamu okunsanyusa.
תרב גדלתי ותסב תנחמני׃
22 Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange; nnaakutenderezanga n’entongooli, Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
גם אני אודך בכלי נבל אמתך אלהי אזמרה לך בכנור קדוש ישראל׃
23 Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu nga nkutendereza, nze gw’onunudde!
תרננה שפתי כי אזמרה לך ונפשי אשר פדית׃
24 Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba, kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.
גם לשוני כל היום תהגה צדקתך כי בשו כי חפרו מבקשי רעתי׃

< Zabbuli 71 >