< Zabbuli 70 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza. Ayi Katonda oyanguwa okundokole. Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
達味紀念歌,交與樂官。 天主,求您快來拯救我,上主,求您速來援助我。
2 Abo abannoonya okunzita batabulwetabulwe; abo abannoonya okunzikiriza, bagobebwe nga baswadde.
願那些圖謀殺害我的人,受辱退去,願那些喜歡我遭難的人,含羞出走!
3 Abagamba nti, “Kasonso,” badduke nga bajjudde ensonyi.
願那些向我哈哈戲笑的人,個個滿面羞慚而退去無影?
4 Naye bonna abakunoonya basanyukenga bajagulizenga mu ggwe. Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Katonda agulumizibwenga!”
願那些尋求您的人,都因您歡欣鼓舞,願戀慕您救恩的人,都常說:大哉天主!
5 Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga; oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda. Ggwe onnyamba era ggwe ondokola, Ayi Mukama, tolwa!
天主,我實在卑微又貧苦,求您速來救我;上主,您是我的助佑和救援,求您不要延擱。