< Zabbuli 69 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi. Ondokole, Ayi Katonda, kubanga amazzi gandi mu bulago.
למנצח על-שושנים לדוד ב הושיעני אלהים-- כי באו מים עד-נפש
2 Ntubira mu bitosi nga sirina we nnywereza kigere. Ntuuse ebuziba n’amataba gansaanikira.
טבעתי ביון מצולה-- ואין מעמד באתי במעמקי-מים ושבלת שטפתני
3 Ndajanye ne nkoowa, n’emimiro ginkaze. Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
יגעתי בקראי נחר גרוני כלו עיני--מיחל לאלהי
4 Abo abankyayira obwereere bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange; abalabe bange bangi abannoonya okunzita awatali nsonga; ne mpalirizibwa mbaddizeewo ekyo kye sibbanga.
רבו משערות ראשי-- שנאי חנם עצמו מצמיתי איבי שקר-- אשר לא-גזלתי אז אשיב
5 Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange, n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.
אלהים--אתה ידעת לאולתי ואשמותי ממך לא-נכחדו
6 Sisaana kuswaza abo abakwesiga, Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye. Abo abakunoonya baleme kuswazibwa ku lwange, Ayi Katonda wa Isirayiri.
אל-יבשו בי קויך-- אדני יהוה צבאות אל-יכלמו בי מבקשיך-- אלהי ישראל
7 Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo, n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
כי-עליך נשאתי חרפה כסתה כלמה פני
8 Nfuuse nga omugwira eri baganda bange, munnaggwanga eri abaana ba mmange.
מוזר הייתי לאחי ונכרי לבני אמי
9 Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo, n’abo abakuvuma bavuma nze.
כי-קנאת ביתך אכלתני וחרפות חורפיך נפלו עלי
10 Bwe nkaaba ne nsiiba, ekyo nakyo ne kinvumisa.
ואבכה בצום נפשי ותהי לחרפות לי
11 Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
ואתנה לבושי שק ואהי להם למשל
12 Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira, era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.
ישיחו בי ישבי שער ונגינות שותי שכר
13 Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe, mu kiseera eky’ekisa kyo. Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda, ondokole nga bwe wasuubiza.
ואני תפלתי-לך יהוה עת רצון-- אלהים ברב-חסדך ענני באמת ישעך
14 Onnyinyulule mu ttosi nneme okutubira; omponye abankyawa, onzigye mu mazzi amangi;
הצילני מטיט ואל-אטבעה אנצלה משנאי וממעמקי מים
15 amataba galeme okumbuutikira n’obuziba okunsanyaawo, n’ennyanja ereme okummira.
אל-תשטפני שבלת מים-- ואל-תבלעני מצולה ואל-תאטר-עלי באר פיה
16 Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo; onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
ענני יהוה כי-טוב חסדך כרב רחמיך פנה אלי
17 Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu, kubanga ndi mu kabi.
ואל-תסתר פניך מעבדך כי-צר-לי מהר ענני
18 Onsemberere onziruukirire, onnunule mu balabe bange.
קרבה אל-נפשי גאלה למען איבי פדני
19 Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa, era n’abalabe bange bonna obamanyi.
אתה ידעת--חרפתי ובשתי וכלמתי נגדך כל-צוררי
20 Okusekererwa kunkutudde omutima era kummazeemu amaanyi. Nanoonya okusaasirwa ne kumbula, n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
חרפה שברה לבי-- ואנושה ואקוה לנוד ואין ולמנחמים ולא מצאתי
21 Mu kifo ky’emmere bampa mususa, era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.
ויתנו בברותי ראש ולצמאי ישקוני חמץ
22 Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika, n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
יהי-שלחנם לפניהם לפח ולשלומים למוקש
23 Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba, n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
תחשכנה עיניהם מראות ומתניהם תמיד המעד
24 Bayiweeko ekiruyi kyo, obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
שפך-עליהם זעמך וחרון אפך ישיגם
25 Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa, waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
תהי-טירתם נשמה באהליהם אל-יהי ישב
26 Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise, ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
כי-אתה אשר-הכית רדפו ואל-מכאוב חלליך יספרו
27 Bavunaane omusango kina gumu, era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
תנה-עון על-עונם ואל-יבאו בצדקתך
28 Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu; baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.
ימחו מספר חיים ועם צדיקים אל-יכתבו
29 Ndi mu bulumi era mu nnaku; obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
ואני עני וכואב ישועתך אלהים תשגבני
30 Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba; nnaamugulumizanga n’okwebaza.
אהללה שם-אלהים בשיר ואגדלנו בתודה
31 Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume, oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
ותיטב ליהוה משור פר מקרן מפריס
32 Abaavu banaakirabanga ne basanyuka; mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
ראו ענוים ישמחו דרשי אלהים ויחי לבבכם
33 Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga, era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.
כי-שמע אל-אביונים יהוה ואת-אסיריו לא בזה
34 Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
יהללוהו שמים וארץ ימים וכל-רמש בם
35 Kubanga Katonda alirokola Sayuuni, n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya, abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
כי אלהים יושיע ציון ויבנה ערי יהודה וישבו שם וירשוה
36 Abaana b’abaweereza be balikisikira; n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.
וזרע עבדיו ינחלוה ואהבי שמו ישכנו-בה

< Zabbuli 69 >