< Zabbuli 68 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi. Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane, n’abo abamukyawa bamudduke.
2 Ng’empewo bw’efuumuula omukka, naawe bafuumuule bw’otyo; envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro, n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
3 Naye abatuukirivu basanyuke bajagulize mu maaso ga Katonda, nga bajjudde essanyu.
4 Muyimbire Katonda, muyimbe nga mutendereza erinnya lye; mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire. Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
5 Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu; ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
6 Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu, aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza; naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.
7 Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo, n’obayisa mu ddungu,
8 ensi yakankana, eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda; n’olusozi Sinaayi ne lukankana awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
9 Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda; ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda, abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11 Mukama yalangirira; ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 “Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe; abantu ne bagabana omunyago.
13 Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu! Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa ebiwaawaatiro byalyo.”
14 Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka, ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15 Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani; ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi? Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako? Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 Mukama ava ku lusozi Sinaayi nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 Bwe walinnyalinnya olusozi, ng’abanyage bakugoberera; abantu ne bakuwa ebirabo nga ne bakyewaggula mwebali; bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe, eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 Katonda waffe ye Katonda alokola; era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be, kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani, ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe, n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”
24 Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda, balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene; mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde, ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda, n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.
28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda, otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 Bakabaka balikuleetera ebirabo olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu, eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga. Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza. Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 Ababaka baliva e Misiri, ne Kuusi aligondera Katonda.
32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna. Mutendereze Mukama.
33 Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda, eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 Mulangirire obuyinza bwa Katonda, ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri; obuyinza bwe buli mu bire.
35 Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu. Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi. Katonda atenderezebwe.