< Zabbuli 67 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba. Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa, era otwakize amaaso go.
For the choirmaster. With stringed instruments. A Psalm. A song. May God be gracious to us and bless us, and cause His face to shine upon us,
2 Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi, n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
that Your ways may be known on earth, Your salvation among all nations.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.
Let the peoples praise You, O God; let all the peoples praise You.
4 Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu. Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya, n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
Let the nations be glad and sing for joy, for You judge the peoples justly and lead the nations of the earth.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.
Let the peoples praise You, O God; let all the peoples praise You.
6 Ensi erireeta amakungula gaayo; era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
The earth has yielded its harvest; God, our God, blesses us.
7 Katonda anaatuwanga omukisa; n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.
God blesses us, that all the ends of the earth shall fear Him.

< Zabbuli 67 >