< Zabbuli 66 >

1 Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi. Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
למנצח שיר מזמור הריעו לאלהים כל הארץ׃
2 Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye. Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
זמרו כבוד שמו שימו כבוד תהלתו׃
3 Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa! Olw’amaanyi go amangi abalabe bo bakujeemulukukira.
אמרו לאלהים מה נורא מעשיך ברב עזך יכחשו לך איביך׃
4 Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira, bakutendereza, bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
כל הארץ ישתחוו לך ויזמרו לך יזמרו שמך סלה׃
5 Mujje mulabe Katonda ky’akoze; mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
לכו וראו מפעלות אלהים נורא עלילה על בני אדם׃
6 Ennyanja yagifuula olukalu. Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi, kyetuva tujaguza.
הפך ים ליבשה בנהר יעברו ברגל שם נשמחה בו׃
7 Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna; amaaso ge agasimba ku mawanga, ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
משל בגבורתו עולם עיניו בגוים תצפינה הסוררים אל ירימו למו סלה׃
8 Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga; eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
ברכו עמים אלהינו והשמיעו קול תהלתו׃
9 Oyo y’atukuumye ne tuba balamu, n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
השם נפשנו בחיים ולא נתן למוט רגלנו׃
10 Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza, n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
כי בחנתנו אלהים צרפתנו כצרף כסף׃
11 Watuteeka mu kkomera, n’otutikka emigugu.
הבאתנו במצודה שמת מועקה במתנינו׃
12 Waleka abantu ne batulinnyirira; ne tuyita mu muliro ne mu mazzi, n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
הרכבת אנוש לראשנו באנו באש ובמים ותוציאנו לרויה׃
13 Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa, ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
אבוא ביתך בעולות אשלם לך נדרי׃
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza; akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
אשר פצו שפתי ודבר פי בצר לי׃
15 Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava, mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume; mpeeyo ente ennume n’embuzi.
עלות מחים אעלה לך עם קטרת אילים אעשה בקר עם עתודים סלה׃
16 Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda, mbategeeze ebyo by’ankoledde.
לכו שמעו ואספרה כל יראי אלהים אשר עשה לנפשי׃
17 Namukaabirira n’akamwa kange, ne mutendereza n’olulimi lwange.
אליו פי קראתי ורומם תחת לשוני׃
18 Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange, Mukama teyandimpulirizza;
און אם ראיתי בלבי לא ישמע אדני׃
19 ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
אכן שמע אלהים הקשיב בקול תפלתי׃
20 Katonda atenderezebwenga, atagobye kusaba kwange, wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!
ברוך אלהים אשר לא הסיר תפלתי וחסדו מאתי׃

< Zabbuli 66 >