< Zabbuli 65 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi. Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni; tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
2 Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo, abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
3 Ebibi byaffe bwe byatusukkirira, n’otutangiririra.
4 Alina omukisa oyo gw’olonda n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo. Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo; eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.
5 Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna abali ewala mu nnyanja zonna,
6 ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo, n’ozinyweza n’amaanyi go,
7 ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja, n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo, era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
8 Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo; ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
9 Ensi ogirabirira n’ogifukirira n’egimuka nnyo. Emigga gya Katonda gijjudde amazzi, okuwa abantu emmere ey’empeke, kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro, n’ojjuza ebitaba byamu; n’ogonza ettaka, ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi, ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi, n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 Amalundiro gajjula ebisibo, n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke. Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.