< Zabbuli 64 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange; okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.
2 Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi, onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
3 abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala, ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
4 Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase; amangwago ne bamulasa nga tebatya.
5 Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi ne bateesa okutega emitego mu kyama; ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
6 Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti, “Tukoze enteekateeka empitirivu.” Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.
7 Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe; alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
8 Ebyo bye boogera biribaddira, ne bibazikiriza, ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
9 Olwo abantu bonna ne batya, ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda, ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.
10 Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama, era yeekwekenga mu ye. Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!