< Zabbuli 63 >
1 Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda. Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya n’omutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ng’ali mu nsi enkalu omutali mazzi.
2 Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu, ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3 Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga.
4 Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna; nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga; nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
6 Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange, era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
7 Olw’okuba ng’oli mubeezi wange, nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
8 Emmeeme yange yeekwata ku ggwe; omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa, baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala; ne bafuuka emmere y’ebibe.
11 Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda; bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda, naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.