< Zabbuli 62 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi. Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka; oyo obulokozi bwange mwe buva.
למנצח על-ידותון-- מזמור לדוד ב אך אל-אלהים דומיה נפשי ממנו ישועתי
2 Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange; ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.
אך-הוא צורי וישועתי משגבי לא-אמוט רבה
3 Mulituusa ddi nga mulumba omuntu, mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
עד-אנה תהותתו על-איש-- תרצחו כלכם כקיר נטוי גדר הדחויה
4 Bateesa okumuggya mu kifo kye ekinywevu, basanyukira eby’obulimba. Basaba omukisa n’emimwa gyabwe so nga munda bakolima.
אך משאתו יעצו להדיח-- ירצו כזב בפיו יברכו ובקרבם יקללו-סלה
5 Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka; kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
אך לאלהים דומי נפשי כי-ממנו תקותי
6 Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange, ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
אך-הוא צורי וישועתי משגבי לא אמוט
7 Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka; ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
על-אלהים ישעי וכבודי צור-עזי מחסי באלהים
8 Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu, mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe, kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
בטחו בו בכל-עת עם-- שפכו-לפניו לבבכם אלהים מחסה-לנו סלה
9 Abaana b’abantu mukka bukka, abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere; ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani, n’omukka gubasinga okuzitowa.
אך הבל בני-אדם-- כזב בני-איש במאזנים לעלות המה מהבל יחד
10 Temwesigamanga ku bujoozi wadde ku bintu ebibbe. Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga, era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
אל-תבטחו בעשק ובגזל אל-תהבלו חיל כי-ינוב-- אל-תשיתו לב
11 Katonda ayogedde ekintu kimu, kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti: Katonda, oli w’amaanyi,
אחת דבר אלהים--שתים-זו שמעתי כי עז לאלהים
12 era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala. Ddala olisasula buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri.
ולך-אדני חסד כי-אתה תשלם לאיש כמעשהו

< Zabbuli 62 >