< Zabbuli 61 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda; wulira okusaba kwange. 2 Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi, omutima gwange nga gugenda gunafuwa. Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka. 3 Kubanga gw’oli kiddukiro kyange. Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe. 4 Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna; ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo. 5 Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange: ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo. 6 Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka; emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi, 7 alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna. Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga. 8 Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna, nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.

< Zabbuli 61 >